
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akinogaanyizza nti ebyemizannyo bya Uganda bwe biba byakwongera okukulakulana abakulembeze nábantu sekinoomu batekeddwa obutatabikirizaamu byabufuzi.
Agambye nti ebyemizannyo gwafuukira ddala omulimu oguwa abantu emirimu n’ensimbi enkumu.
Katikkiro bino abyogeredde ku mbuga ya Buganda e Bulange Mengo,bwabadde asiibula ttiimu ya Buganda ne ttiimu ya Kampala ezigenda okukiikirira ekitundu kya Buganda mu mpaka za FUFA Drum ezómwaka guno 2022.
Mungeri yeemu Katikkiro asabye abazannyi okukulembeza empisa mu buli kyebakola okusitula ebitone byabwe.
President wékibiina ekiddukanya omuzannyo gwómupiira mu Uganda ekya FUFA, Eng Moses Magogo, abulidde Katikkiro nti empaka za FUFA Drum zirina emiganyulo njolo, omuli okutumbula ebyóbulambuzi n’ebitone , wadde nga baafuna okuwakanyizibwa nga empaka zino zitandika.
Minister wébyemizannyo mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabemebe Kiberu, asabye ttiimu zino ezigenda okukikirira Buganda mu mpaka za FUFA Drum okukulembeza empisa nóbumu.
Empaka za FUFA Drum zitandika nga 30 omwezi guno ogwa July.
Tiimu ya Kampala egenda kuggulawo ne Bukedi e Butalejja ate ttiimu ya Buganda egenda kuggulawo ne Kigezi e Kabaale nga 5 omwezi ogujja ogwa August.
Empaka za FUFA Drum zetabwamu ebitundu bya Uganda ebyenjawulo.
Zaatandika mu 2018 era Buganda bebaali ba Nnantameggwa b’omwaka ogwo.
Mu 2019 FUFA Drum zaawangulwa Acholi.
Emyaka ebiri egiyise 2020 ne 2021 tezaategekebwa olw’ekirwadde kya Covid 19 ekyakosa ensi n’essibwa ku muggalo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe