
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, alambudde abantu ba Kabaka abali mu Netherlands, naabakubiriza nti mu buli kyebakola baleme kwerabira butaka bwabwe, ate bongere n’okusomesa abaana ennono zabwe.
Atuukidde mu kibuga Amsterdam, ekya Budaaki (Netherlands), era ng’abamu ku bantu abamwanirizza mubaddemu abaana abato.
Ayaniriziddwa ekibinja y’abaweereza ba Kabaka omubadde; Mw. Sam Ssekajugo-ssentebe wa Buganda – Chapter Netherlands; Mw. David Mulindwa, ow’abavubuka n’ensonga z’abaana; Ssaalongo Eddy Kalungi, ow’obuwangwa n’emizannyo ne Olivia Nankya, ow’Abakyala ku lukiiko.
Olivia Nankya nga yewabakyala ku lukiiko lwe Scandinavia era nga yakiikiridde Owek Wilson Mugenyi atwala essaza lye Scandinavia, asabye abakyala Abaganda mu Bulaaya, okuzzaawo enkola y’Okusomesa abaana Olulimi Oluganda mu maka, mu masinzizo neebifo ebirala.
Ssekajugo Samuel Musoke yemwami wa Ssaabasajja atwala ebitundu bye Netherlands agambye nti obumu bweboolesezza bwebubayambye okutambulira awamu.
Katikkiro awerekeddwako Owek. Joseph Kawuki minisita omubeezi owa government ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ebweru wa Buganda n’abakungu abalala.
Okugenda e Natherlands yavudde Norway.