Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebikolwa eby’okubuzaawo abantu n’okubatulugunya bikomezebwe, kimalewo obunkenke obuli mu bannayuganda obutuuse n’okubalemesa okukola bakulaakulane.
Katikkiro abadde aggalawo omwaka gw’enkola y’oluwalo 2022 mu Bulange e Mengo, nategeeza nti enkulaakulana y’abantu yakweyongera mu Buganda ne Uganda yonna, singa emitima gy’abantu giba tegyewanise.
Katikkiro mungeri yeemu atenderezza abantu ba Kabaka mu Buganda , Uganda yonna n’ebweru waayo olwokuwagira Obwakabaka n’enteekateeka zabwo.
Katikkiro era alabudde abalowooza nti Kooki ssi kitundu ku Bwakabaka bwa Buganda, nti bano benoonyeza byabwe, era basanye bakikomye bakolerere nkulakulana y’abantu bonna.
Minister wa government ez’ebitundu mu Bwakabaka Owek Joseph Kawuki, atenderezza bannaddiini , amasomero, bannakatemba ,abagoba ba Bodaboda, Obutale n’abagoba ba taxi okujjumbira enkola ya Luwalo Lwange, ekyongedde okutumbula Obumu.
Akawumbi ka shilling kalamba keekasondeddwa mu nkola ya Luwalo ey’omwaka ogukomekkerezebwa 2022.
Essaza Kyaddondo lyerisinze okuleeta oluwalo lireese obukadde obusobye mu 200, Kyaggwe obukadde 81, Buluuli 3, Buddu 130, Buvuma 9, Ssingo 80, Bulemeezi 56, Ssese17, Busujju 19, Kabula 6, Busiro 97, Gomba 16, Gomba 16, Mawogola 19, Mawokota 44, Butambala 10, Bugerere 13, Kooki 10, Buweekula 20.
Ebibiina ebyenjawulo bireese obukadde 16, amatendekero n’amasomero obukadde 5, amasaza g’ebweru wa Uganda obukadde 95, amasaza agali ebweru wa Buganda omuli Ankole, Bugisu ne Bukedi obukadde 13.
Omubaka wa Busujju mu lukiiko lw’eggwanga David Lukyamuzi Kalwanga n’Omubaka omukyaala owa Mityana Joyce Baagala Ntwatwa ku lwa bannabyabufuzi, bakukkulumidde enkola ey’ekiwamba bantu eri mu ggwanga,nebasaba abavunaanyizibwa ku bikolwa bino beddeko.
Omwaami wa Ssabasajja atwaala essaza Busujju nga yakiikiridde abaami b’amasaza bonna Kasujju Mark Jingo Kaberenge , yeebazizza Beene olw’okukwata ku baami b’Amasaza naabawa entambula, ekibayambye okutambuza emirimu gyonna mu Bwangu ddala.
Martin Kalule okuva mu kibiina kya Buganda Cultural development Association ekiri mu America Seattle nga yakiikiridde atwala essaza lya Pacific North West mu America, ku lw’omwami w’essaza eryo Owek Eng. Moses Mayanja Ggayi, agambye nti baakugenda ku maaso n’enteekateeka z’okuzimba enzizi mu Masaza ga Beene 18, okutumbula ebyobulamu.
Bisakiddwa: Kato Denis