Omukulembeze w’ekibiina ky’eby’obufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Kabuleeta Joseph agombeddwamu obwala, bw’abadde yakamaliriza olukungaana lwa bannamawulire olubadde ku woofisi zekibiina e Bugoloobi .
Kabuleeta ayogedde ku nsonga ez’enjawulo ezigenda mu maaso mu ggwanga, naddala ezikwata ku bulumbaganyi obuzze bukolebwa ku bitebe bya police abazigu nebakuliita n’emmundu.
Okusinzira ku mwogezi wekiibina kya NEED Matovu Moses, abakutte mukama wabwe babadde mu ngoye ezabulijjo, era babateggezezza nti bamututte ku kitebe ekikulu ekya bambega e Kibuli, tebababuulidde nsonga emukwasizza.
Abamunonye babadde batambulira mu mmotoka nzirugavu ezaakazibwako eza Drone, wabula ababaddewo bagamba nti tebagikutte namba.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye nti ekitongole kya CMI kyekimanyi ebikwata ku nsonga eno.