
Joshua Cheputegei awangulidde Uganda zzaabu mu mbiro za mita omutwalo omulamba,mu mpaka z ’emisinde egyensi yonna eziyindira mu ssaza lye Oregon mu United States of America.
Aziddukidde eddakiika 27:27:43.
Guno omulundi gwa kubiri ogw’omuddiringanwa Cheptegei ng’awangula zzaabu mu mpaka zino.
Stanley Waithaka Mburo owa Kenya akutte kyakubiri nafuna feeza ,aziddukidde eddaakiika 27:27:90
Munnauganda omulala Jacob Kiplimo akutte kyakusatu n’afuna omudaali ogw’ekikomo.
Kiplimo aziddukidde eddakiika 27:27:93.

Empaka z’emisinde ez’ensi yonna ez’omulundi ogwe 18, zetabyeemu amawanga 192.
Zaatandise nga 15 July zikomekkerezebwa nga 24 July 2022.
Zaali zakubaawo okuva nga 06 August okutuuka nga 15 August 2021, wabula nezoongerwayo olw’ekirwadde kya Covid 19.
Joshua Cheptegei omudaali gwa zaabu guno aguwangudde omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa.
