JOLLY LUTAAYA ETTOFFAALI LYEYATEEKA KU BUGANDA LYANYWEZA OMUGABO GWAFFE MU UGANDA EYAWAMU

Owek.Mathius Mpuuga Nsamba(ku kkono) mu kusabira Owek.Jolly Lutaaya mu lutikko e Lubaga

Erinnya lya Owek. Jolly Lutaaya ffe abavubukidde ku mulembe Omutebi liwandiikibwa wamu mu nnyiriri ez’ogera ku Kitalo olw’okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda!

Nze ne bannange bangi omuli Owek. Medard Lubega, Owek. Noah Kiyimba, Owek. Ffeffekka Sserubogo Kati naye omugezi nabalala bangi nnyo, twenyumiriza mu kwewaayo, okwefiiriza, okumalirira, n’okwefiisa Kw’omwana wa Buganda ono mu ku kuzzaawo Buganda ey’omulembe Omutebi!

Yatambula, yalambula, yalambika, yawagira era yayamba nnyo abavubuka; era nga kabonero kalungi eri abavubuka abaali baagala era nga beewaddeyo okuweereza Namulondo!!

Twebaza nnyo Mukama Katonda olwa Namunswa era Maasomoogi, gwayolesa bulijjo naalengera mu basajja be, naafunayo abafaanana nga Owek. Jolly Lutaaya!

Tunnamujjukira nnyo okuwaayo nga teyeebalira, n’omugenzi Owek. Godfrey Kkaaya Kavuma, n’abalala bangi; eri abavubuka ba Nkobazambogo, buli lwe yatuukibwangako!

Ssabasajja Kabaka, twakuumye bubi Musajja wo, gwatusinze nnyo!

Twagala okusaasira ennyo ab’omumakaage olw’okuviibwako Taata! Naye tusaba mugume nga mumanyi nti mukadde wammwe tayise buyisi mu nsi, naye alesse omukululo ogubaweesa ekitiibwa!!

Ettoffaali ly’atadde ku Buganda ne Uganda lyanyweza omugabo gwaffe mu Uganda; era ekkatala ly’atulekedde ddene okutwala mu maaso ebyo ebikulu mu kuzzaawo Buganda!

Tusaba Mukama akutambuzizza emyaka gino, akusaasire era akwanirize mu Lubiri lwe mu Ggulu!

Gusinze nnyo ayi Bbeene!

Mathias Mpuuga Nsamba

Deputy President -NUP

Leader of the Opposition