Minister w’eby’enjigiriza n’eby’emizanyo era Mukyala w’omukulembeze w’eggwanga, Janet Kataaha Museveni, atabukidde abakuuma ddembe mu bitongole ebyenjawulo obutakola kimala okulwanyisa obulyi bwenguzi, wadde nga government etaddewo amateeka ageetagisa.
Minister Kataaha Museveni, bino abiyisizza mu bubaka bwatisse omumyuka wa president Rtd Maj Jessica Alupo, ku mukolo ogw’okutongoza kawefube atuumiddwa Anti-corruption Campaign (ACC) 2022, agendereddemu okulwanyisa obulyi bwenguzi n’okutema amakubo aganagobererwa okuvunaana, n’okukwata abalyake mu ggwanga.

Omukolo gubadde mu kisaawe ky’amefuga e Kololo.
Minister Kataaha Museveni agamba nti kino kye kiseera buli muntu okukola oluwalolwe, Uganda bweneeba yakulwanyisa nguzi eggwewo ng’omwaka 2030 tegunayita.
Thomas Tayebwa, omumyuka wa sipiika wa parliament asinzidde ku mukolo guno naakakasa nti waliwo n’abakulembeze b’ebitongole ebimu, abatya okutuula ku bukiiko obulwanyisa enguzi, olwokutya abalyake okubatuusaako obulabe, ssinga babaanika.
Asabye government era okufaayo okukolera emirimu gyonna ku mutimbagano, okutangira enguzi, kyokka naakuba n’ebituli mu nkola ya IGG eya “Lifestyle audit” erondoola ebyobugagga by’abantu nga bagerageranya nenfuna yaabwe.

Agambye nti enkola eno ekotoggera abakozi ba government okubaako emirimu emirala gyebatandikawo okwongera ku nnyingiza yabwe.
Ku mukolo guno kubaddeki ebikujjuko by’okusabira eggwanga okuvvuunuka enguzi,okubadde His Eminence Ssabasumba weekeresiya y’aba Orthodox, Jerenomos Muzeeyi, Pastor Dr Daniel Matte, president wa seventh day Adventist Uganda Union.
Kaliisoliiso wa government Beti Olive Namisango Kamya Turyomwe, agambye nti enteekateeka etongozeddwa yakuyambako n’okukwata abakungu abeenyigira mu bulyi bwenguzi.
Buli muntu oba ekitongole ekironkoma abantu abenyigira mu kulya enguzi, bwebakwatibwa nezinunulwa, ku buli kawumbi ka shilling kamu (shs 1 b) owebwako obukadde ataano (shs 50m).

Mu kusaba kuno, basabidde ensimbi trillion 48 ezigenda okutambuza embalirira y’eggwanga ey’omwaka guno 2022/2023 zireme okubulankanyizibwa, basabidde ensimbi mu nkola ya Parish Development Model (PDM) esuubirwa okulakulanya abantu okuva mu bwavu, embeera y’enjala eri mu bendobendo lye Karamoja, emisaala gyabakozi, obwavu, emirembe mu ggwanga nebirala.