
Omuddusi munnauganda Jacob Kiplimo ayongedde okuwa bannayuganda essanyu mu mpaka za Commonwealth Games eziyindira e Birmingham Bungereza, awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu omulala mu misinde gya mita 5000.
Jacob Kiplimo emisinde gino agiddukidde eddakiika 13 :08:08, era naweza emidaali gya zaabu 2 gye yakawangula mu mpaka zino.
Yasoose kuwangula mudaali gwa zaabu mu misinde gya mita omutwalo 10,000, naguno gwawangudde mu mita 5000.
Jacob Kiplimo okuwangula mita 5000 amezze bannaKenya 2, okubadde Nicholas Kimeli akutte ekifo eky’okubiri addukiddewo eddakiika 13:08:19 ne Jacob Krop akutte ekifo eky’okusatu ku ddakiika 13:08:48.
Uganda kati ewezeza emidaali 4 gye yakawangula mu mpaka za Commonwealth Games 2022, okuli egya zaabu 3 n’ogwekikomo 1.
Victor Kiplangat yeyasooka okuwangula omudaali gwa zaabu mu kutolontoka ebyalo, Jacob Kiplimo awangudde emidaali gya zaabu 2 mu mita omutwalo 10,000 ne 5000, ate nga Peruth Chemutai yawangudde omudaali gw’ekikomo mu mita 3000 eza steeplechase.