Leero ennaku z’omwezi ziri 7th September, 2022 lweguweze omwaka omulamba, ng’ababaka ba parliament Allan Sewanyana owa Makindye West ne Mohammed Sseggirinya owa Kawempe North nga bali mu nkomyo ku alimanda ku misango gy’obutujju n’okutemula abantu.
a bali mu nkomyo ku misango gy’obutujju n’obutemu, bannamateeka baabwe bagamba nti tebafunye bwenkanya bumatiza kulaba ng’ababaka bano bayimbulwa.
Ennaku z’omwezi zaali 7th September 2021, ababaka bano lwebaaasimbibwa mu kkooti ento e Masaka, nebaggulwako emisango gy’obutemu, obutujju n’okugezaako okutta.
Emisango gino gyonna gyekuusa ku bijambiya ebyatigomya ebitundu ebyenjawulo mu Masaka ne Lwengo, abantu abasukka 30 gyebalusuuliramu akaba.
Ababaka bano baasindikibwa mu nkomyo era nebagezaako okusaba okweyimirirwa emirundi egiwerako, wabula kkooti nebagaana, ngegamba nti singa bayimbulwa kyangu okutaataganya okunonyereza ku misango egibavunaanwa.
Bannamateeka b’ababaka bano abakulemberwamu lordmayor wa Kampala Erias Lukwago, bagamba nti semateeka w’eggwanga ajolongeddwa ekitongole ekiramuzi, nti kubanga abantu babwe balina ebisanyizo byonna ebibakkiriza okuyimbulwa ku kakalu ka kooti.
Erias Lukwago era alaze obutali bumativu ku ntambuza y’omusango guno gyagamba nti etambula kasoobo, ate nga n’oludda oluwaabi lukyalemereddwa okuleetayo obujulizi obulumiriza ababaka ku misango gino.
Ssabawandiisi wekibiina ki NUP ababaka bano mwebava David Lewis Lubongoya agamba kyennyamiza okulaba ng’omwaka mulamba guweze ababaka bano bali ku alimanda, nti so ng’emisango egibavunaanibwa mijweteke.
Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani, agambye nti kooti bagiranga mwemage era nti terina kunenyezebwa olw’ ababaka bano okukuumirwa mu nkomyo, wabula kkatala lya Bannamateeka babwe okuteekayo okusaba okwokweyimirirwa okuli mu mateeka.
Wabula Ssaabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka agambye nti family zábabaka bano balina kuguma bugumi okutuusa kooti lweziribayimbula.
Kinajukirwa nti ababaka bano,kooti mu kusooka yabakiriza okweyimirirwa naye baali bafuluma ekkomera, ate abakuuma ddembe nebaddamu nebabavumbagira nebabassa mu motooka zi Drone,era ababaka bano balumiriza nti batulugunyizibwa nga baddamu okukwatibwa