
Minister w’ebyensimbi nookuteekerateekera eggwanga Matia Kasaija ayogedde kaati nti ebyenfuna byeggwanga tebitambula bulungi , nga n’ensimbi eziddukanya eggwanga mu kiseera kino baziwamanta buwammansi.
Awadde ekyókulabirako nti n’ensimbi zeyaweereza mu bitongole by’eggwanga mu ttunduttundu lino erisooka ery’omwaka gwebyensimbi 2022/2023 nti zaali ntono ddala.
Minister Kasaija abadde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebyenfuna by’eggwanga.
Minister Kasaija agambye nti ekitongole kya URA omusolo gwekikuȠaanya mutono ddala olwébyenfuna ebiserebye mu ggwanga, nga nólwekyo ne ministry y’ebyensimbi ebeera terina nsimbi zakusindiikira bitongole bya government.
Minister Kasaija agamba nti nga minister wébyensimbi yandyewoze mu bank ya Uganda enkulu okuddukanya emrimu gyéggwanga, nti naye bank eno ejja kumusaba amagoba amayitirivu.
Wabula asuubiza ababaka nti wiiki ejja wakuddayo eri akakiiko kano noomuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi avunanyizibwa ku ggwanika ly’eggwanga Ramathan Goobi, abanyonyodde ebisingako ku ngeri ebyenfuna byeggwanga gyebitambulamu ennaku zino.
Gyebuvuddeko abakulu mu ministry eno ey’ebyensimbi babuulira eggwanga nti ekyaviirako okuwaayo ensimbi entono mu bitongole bya government kyava ku nteekateeka ya ministry eno, okukendeeza ku kunaabuka kw’ensimbi (inflation ) ngeyita mu kukendeeza ku bungi bw’ensimbi eziri mu bantu.
Omubaka omukyala owa district ye Pakwach Jane Pachuto yebaziza minister Kasaija olwokwogera amazima nti government terina nsimbi kuddukanua ggwanga, mu kifo ky’okwekweka mu inflation nga banne mwebali bekwese,naagamba nti kati ekizibu ekituufu kitegerekese.
Omubaka omukyala owa district ye Namayingo Margret Makhoha asabye minister nti nga bwayogedde amazima nti ebyenfuna byeggwanga bibi, bwaaba addayo eri akakiiko wiiki ejja agende nenteekateeka government gyerina okuyamba bannansi abalina business eziri obubi, nti kubanga bweziba tezikola bulungi ,government omusolo ebeera tejja kugufuna.