Sipiika wa parliament Anita Among awadde government amagezi okutandika okulowoozo ku ky’okwongezaayo ekisanja ky’abakulembeze b’obukiiko bw’abakyala ku mitendera gyonna kiyambeko ebifo ebyo obutasigala nga bikalu.
Okusinziira ku mateeka agaliwo agafuga obukiiko obwo, ekisanja kyabwe kyagwako mu August w’omwaka guno 2022.
Mu June w’omwaka guno 2022 akakiiko k’eby’okulonda kaayongezaayo okulonda kw’obukulembeze bw’abakyala okuviira ddala ku byalo okutuuka ku mutendeera gw’eggwanga lyonna, kaategeeza nti tekaafuna nsimbi zimala okuteekateeka okulonda okwo.
Omumyuka wa Ssaabawolereza wa government Jackson Kafuuzi agamba nti akakiiko keby’okulonda kaali ketaaga obuwumbi 35 n’obukadde 600 okutegeeka okulonda kuno mu ggwanga lyonna.
Wabula government yasobola kubawaako obuwumbi 15 n’obukadde 600 bwokka, olwokuba nti nayo yali mukatuubagiro k’ensimbi, ekyaleteera akakiiko keby’okulonda okulemererwa okuteekateeka okulonda okwo.
Kafuuzi era ategeezezza parliament nti akakiiko keby’okulonda nebeekandiremeddeko okuteekateeka okulonda okwo, wakati wa June ne August nga ekisanja ky’abakulembeze abaliko tekinaggwako, kaali tekasobola kutuukiriza mulimu ogwo olw’ensimbi entono.
Kafuuzi era ategeezezza parliament nti bali mu nteekateeka eyookugenda mu parliament basabe embalirira eyenyogerezza eyo buwumbi 20, bazigatte ku buwumbi 15 akakiiko keby’okulonda kasobole okuteekateeka okulonda okwo.
Sipiika wa parliament Anita Among awo wasabidde omumyuka wa Ssaabawolereza wa government Jackson Kafuzi okuvaayo n’enteekateeka ennambulukufu eri mu mateeka, bayongezeyo ekisanja ky’abakulembeze b’obukiiko bwa bakyala bwonna, nga government bwekyanoonya ensimbi.
Jackson Kafuzi ategeezezza nti agenda kusooka kwebuuza ku lukiiko lwaba minister n’oluvannyuma banjulire parliament ekiddako.
Bisakiddwa: Ssebadduka Johnpaul