
Nga 27 July 2022, lwegyaweze emyaka esatu kasookedde Katonda akutujja ku maaso.
Owek. Godfrey Kaaya Kavuma yoomu ku basajja ba Kabaka enkwatangabo, abaakola ennyo naddala mu nteekateeka z’okuzzaawo Obwakabaka, n’okutuuza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ku Nnamulondo e Nnaggalabi Buddo mu 1993.
Owek. Kaaya mu nteekateeka z’omukolo gw’Amatikkirwa ga Kabaka, yeyali akulira eby’ensimbi (Omuwanika).
Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II, yasiima era naamuwa obumyuka bwa Katikkiro, ku mulembe gwa Katikkiro Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere.
Owek. Kaaya yali musuubuzi wa mmwanyi omukuukuutivu era yakola nnyo okukulaakulanya ekirime kino mu Buganda.
Owek. Kaaya Kavuma yali ssenkulu wa CBS Radio ya Kabaka okumala emyaka 18, era weyafiira yeyali sentebe wa bboodi ya CBS.
Owekitiibwa Kaaya Kavuma yaziikibwa Jjungo Busiro.
Wummula Mirembe Owek. Godfrey Kaaya Kavuma!.