Omusomesa, Omusiizi w’ebifaananyi, Munnamagye, Omununuzi, Omuyimbi, Munnabyabufuzi era Omusuubuzi.
Ebikumi n’ebikumi by’abantu abetabye mu kuziika Omugenzi Gen. Elly Tumwine ku kyalo Mukuru mu gombolola ye Rwemitoma mu district y’e Kazo, ebyo bye bimu ku bimwogeddwako abantu abenjawulo naddala abakulu mu government basinze okuwangaala nabo.
Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja y’abadde omukungubazi omukulu, natenderezza Gen. Tumwiine gwayogedeko ng’omuntu abadde omugezi era omukozi atemotyamotya naddala mukwogera ekimuli ku mutima.
Nabbanja agambye nti obuweereza bwa Tumwine naddala mu perliament eyomwenda, nti yamuyamba nnyo okuyiga obukulembeze.
Ba minister abaliko n’abaawummula, abazirwanako mu lutalo olwaleeta government ya NRM mu buyinza, bannamagye n’abalala bingi nabo bamwogeddeko, ng’omusajja abadde mwoyo gwa ggwanga.

Minister w’obutebenkevu Rtd Maj.Gen Jim Muhwezi eyaddira Gen.Elly Tumwine mu bigere, agambye nti amwogeddeko ng’omusajja eyawaayo obulamu bwe bwonna eri eggwanga lye.
“Gen.Tumwine put his life on the frontline for his country. He gave everything he had during his life to this country.He has left a better country than he found it . We shall remember him as a stateman” – Maj.Gen. Jim Muhwezi
Eyaliko minister John Nasaasira naye ayogedde ku Tumwine ng’omuntu abadde ayagala ennyo eggwanga lye, era nti obwagazi obwo abadde abuyisa ne mu nnyimba eziteegerebwa buli muntu, wadde nga tabadde muyimbi mulungi.
“Tumwine used music to express his love for Uganda. He was not a good musician, but he put his message through his songs” – former minister John Nasaasira.
Eyali minister w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa, ayogedde ku Tumwine ng’omuntu abadde teyemotyamotya ate nga talya bigamno bye.
” He was a man of his words; and who had a great love for children”.
Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj.Gen.Kahinda Otafiire agambye nti Gen. Elly Tumwine bweyali atwalibwa e Nairobi okujanjabibwa, yamuweereza obubaka ku ssimu namutegeeza nti teyali wakudda, era namusaba obutava ku mulamwa ogwabatwala okulwana mu nsiko.
“He asked me not to divert from what we were fighting for” – Gen Kahinda Otafiire
Abantu abalala bangi batenderezza Tumwine ng’omusajja abadde mwoyo gwa ggwanga, eyawaayo obulamu bwe ku lw’eggwanga lye, era nga yatuuka n’okukubwa essasi eryamuggyamu erimu ku liiso lye bwebaali balwana mu nsiko mu bitundu bye Bukomero.
Wabula wadde guli gutyo, mu mwaka gwa 2020 nga kakuyege w’akalulu ka 2021 ayinda, nga minister w’obutebenkevu yalabula abantu obutaddamu kugezaako kwekalakaasa okwewala ebyali biyinza okuddirira.
Gen.Elly Tumwine yabategeeza nti police erina eddembe n’ebbeetu okubakuba amasasi n’okubatta, singa bayita webandikomye.
“Police had a right to shoot and kill people if they went beyond a certain of violence”
Ebigambo ebyo byannyika emitima gy’abantu, era newafiiridde bangi baavuddeyo nebalaga enyiike gyebaafuna olw’ebigambo ebyo.

Wabula Muwala wa Gen.Elly Tumwine Cynthia Tumwine awanjagidde bannauganda kitabwe beyanyiiza bamusonyiwe.
Gen.Elly Tumwine yazaalibwa nga 12 April, 1954 e Burunga mu district ye Mbarara.
Yasomera mu Burunga primary school, Mbarara High, St.Henry’s college Kitovu ne Makerere University gyeyakugukira mu kusiiga ebifaananyi mweyafuna degree mu 1977, era ng’abadde ne diploma mu busomesa.
Mu 1978 yegatta ku kibiina kya FRONASA ekyali kikulirwa Yoweri Kaguta Museven.
Oluvannyuma yegatta ku bayeekera ba NRA eya yeyakuba essasi eryasooka eryanasula olutalo lw’ekiyeekera mu nkambi ye Kabbamba.
Yoomu ku bajaasi omukaaga abatandika akakiiko ak’okuntikko akamagye ga UPDF mu 1986 nga bakawamba obuyinza era erinnya lye lyankalakkalira ku kakiiko ako.
Yakulira ekitongole ekikettera ebweru w’eggwanga (ESO).
Yaliko ssentebe wa kooti y’amagye.
Abadde mubaka wa parliament akiikirira UPDF okuva mu 1986 – 2021.
Gen.Elly Tumwine yali minister w’obutebenkevu okuva mu 2018 -2021.
Bweyali awaayo wofiisi y’obwaminister eri munne Brig.Jim Muhwezi eyamuddira mu bigere mu 2021, Gen Elly Tumwine yasaba president Yoweri Kaguta Museven nti naye ateeketeeke okuwaayo obukulembeze bw’eggwanga eri omuntu omulala mu mirembe, okukuuma obutebenkevu n’enkulakulana y’eggwanga lino.
Gen Elly Tumwine yafudde kirwadde kya kkokolo w’amawuggwe mu Aga Khan hospital mu Nairobi mu Kenya.
Aziikiddwa ku kyalo Mukuru mu gombolola ye Rwemitoma mu district ye Kazo, era amagye gamukubidde emizinga 17.
https://cbsfm.ug/eyaliko-minister…y-tumwine-afudde/