Mu mpaka z’omupiira ogw’ebigere eza FIFA World Cup eziyindira e Qatar, Morocco ewadde semazinga wa Africa essanyu bwakubye Belgium goolo 2-0.
Kakaano Morocco ewezezza obubonero 4 okuva mu mipiira 2.
Omupiira ogwasooka yakola amaliri ga 0-0 ne Croatia.
Morocco omupiira gwayo ogusembayi egenda kuzannya ne Canada nga yetaaga maliri gokka okugenda ku mutendera oguddako.
Morocco ye ttiimu ya Africa ey’okubiri okufuna obuwanguzi mu mpaka zino, nga Senegal yeyasoose nga ekuba abategesi aba Qatar goolo 3-1.#