
Ekibiina kya FDC kitandise kawefube owókutekateeka okukyusa obukulembeze bwékibiina kino, oluvanyuma lwékisanja kyóbukulembeze obuliko okugwako.
Ekisanja ekisooka eky’obukulembeze bwa Eng Patrick Amuriat Oboi kyagwako mu mwaka gwa 2020, nga nókutuusa kati tebalondanga bukulembeze bulala.
Ekisanja ky’obukulembeze bwa FDC kimala emyaka 3.
Amuriat yalondebwa mu mwezi ogwe 11 omwaka gwa 2017, bweyamega Gen Mugisha Muntu mu kalulu akaali mu kisaawe e Namboole.

Omwogezi wékibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda cbs bwemutuukiridde ku nsonga yókukyuusa obukulembeze bwékibiina kino agambye nti ekirwadde kya Covid 19 kyekyabaleetera okweyongezaayo emyaka emirala nga batambuza ekibiina.m n’agumya bannaFDC obuteeraliikirira.#

Waliwo banna kibiina ababadde batandise okuwulirwa nga abagala abakulu bategeke okulonda nti kubanga nabo bangi bagala okufuna ku bifo ebisava mu kibiina.