Essimu eziwerera ddala obukadde 6 zezoolekedde okuggibwa ku mayengo g’ebyempuliziganya, oluvannyuma lw’okuzuulibwa nti zabicupuli era tezisaanye kubeera ku mpewo.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya Uganda Communications Commission (UCC), kitegezezza nti essimu zino zigenda kuggibwako mu mitendera, okumala ebbanga lya myezi mukaaga.
Fred Otunnu ayogerera ekitongole kino, agambye nti essimu zino ez’omutindo omubi ezisinga zikukusibwa neziyingizibwa eggwanga nga tezisasudde na misolo.
Otunnu agambye nti abantu abasusse okwenyigira mu bikolobero nga bakozesa essimu, beyambisa ssimu kika ekyo, nebagula layini n’essimu nnyingi zebakozesa.
Alabudde abantu okwongera okukuuma endagamuntu zabwe, nti kubanga abazzi bemisango bazikozesa okuwandiisa Layini z’essimu ez’enjawulo.
Emyaka egiyise UCC ezze yeewera okuggyako essimu kika kino, wabula nekitateekebwa mu nkola, wabula Otunnu agamba nti ku mulundi guno betegese.
Mu nteekateeka eno Uganda Communications Commission, (UCC), etongozza kawefube gwetumye, “Simu klear campaign”, okusomesa abantu ku bulabe obuli mu kukozesa essimu ekika kino, nokuzuula essimu zonna enkyamu eziri mu katale.
Fred Muwema, akulira ebyamateeka mu kitongole kya Anti-Counterfeit Network Africa, nti omuntu okumanya essimu entuufu kimwetaagisa okunyiga nnamba *197*4# oba *#06#.
Bisakiddwa: Ddungu Davis