Wazzeewo akalippo mu Parliament n’olukiiko lwaba minister, ku nteekateeka y’okugatta ebitongole bya government ebikola emirimu egifaanagana okukendeeza ensimbi zebisasaanya.
Olukiiko lwaba minister lwasalawo nti ebitongole ebiri eyo mu 80 bigattibwe.
Ebimu ku bitongole government byeyanokolayo byeyagamba nti byegenda okugatta bizibweyo mu ministry ,kuliko UNRA ,NITA-U , Uganda coffee Development Authority, Coffee Development Authority ,Uganda Raod Fund ,Diary Development Authority, National Foreetry Authority , Uganda Meteorological Authority.
Ebirala kwaliko Uganda Human Rights Authority government kyeyagala okugatta ne Equal Opportunities Commission ,ekitongole kya NIRA okukigatta ne UNBS n’ebirala
Wabula parliament akakiiko kaayo akekiseera keyasaawo akaali kakulemberwa omubaka wa Bukanga Nathan Byanyima ,akeetegereza enteekateeka eno ey’okugatta ebitongole bino, kaliko ebitongole byekawakanya nti tebisaanye kugattibwa.
Parliament ng’esinziira ku alipoota y’akakiiko ako, yasalawo nti ebitongole okuli UNRA, Uganda coffee Development Authority, Cotton Development Authority, Uganda road Fund, Diary Development Authority ,National Forestry Authority ne Uganda Meteorological Authority nti bisigalewo nga byetengeredde.
Wabula ku lwokutaano lwa wiiki ewedde ,akabondo k’ababaka bannakibiina Kya NRM akaatuula e Kololo, kaakkaanya ne president Museven nti ebimu ku bitongole ebyo bigattibwe, wadde ng’ababaka beebamu ate bebaasemba alipoota y’akakiiko ka parliament nti tebigattibwa.
Government mu nteekateeka y’okugatta ebitongole egamba, nti yakufissa ensimbi obuwumbi obuli eyo mu 900, songa mu kugatta ebitongole ebyo era kyandifiiriza bannansi abasoba mu 1000 emirimu
President Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde e Kololo mu nsisinkano n’ababaka bannaNRM, ,yagambye nti okugatta ebitongole y’engeri yokka ey’okubbulula eggwanga okuva mu katuubagiro kebyenfuna ketuubiddemu.