
Ensisinkano y’ebibiina by’abakozi mu mukago ogwa National Organization of Trade Union (NOTU) nabamu ku bakulembeze b’abasomesa mu kibiina ekya UNATU, n’abakulu mu government etudde leero tevuddemu kalungi ku ky’abasomesa okudda mu bibiina, bajulidde ntuula ezinaddako.
Ensisinkano eno emaze essaawa satu.
Government yakkiriza okuddamu okutuula okuteseganya nabakozi abali mu keedimo, naabo abateekateeka obwediimo obulala, okusalira awamu amagezi ku ngeri y’okubumalawo.
Olukungaana luno lwetabiddwamu omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Rtd.Maj.Jesca Alupo,minister wa Public Service Wilson Muruli Mukasa, omuteesiteesi omukulu mu ministry ya public Service, Catherine Birakwate, ababaka b’abakozi, n’abakulembeze b’omukago ogutaba ebibiina byabakozi ogwa National Organization of Trade Unions (NOTU) nekibiina kyabasomesa ekya UNATU n’abalala.
Olukungaana luno lukubiriziddwa omumyuka wa President, n’ekigendererwa ekyokumalawo obukuubagano, ku bwediimo bwabasomesa n’abakozi ba government abalala.

Basazeewo nti abasomesa mu kibiina kya UNATU n’abakozi ba gavumenti ez’ebitundu baddemu okusisinkana ku lw’okutaano lwa wiiki eno ku kitebe kya wofiisi ya public service.
Vice President Alupo asoose n’asaba abasomesa okuddayo ku mirimu baleme okufiiriza bayizi, nti kuba babadde bakava mu muggalo ogwa Covid 19.
Abasomesa beeremye nebagamba nti bbo tebalina kigendererwa kyakufiiriza bayizi, wabula kyebagala kyakuboongeza misaala baddeyo basomese abaana beggwanga.
Wabula Vice President Alupo, bwalabye beeremye neyeeyama okutwalira president Museveni, ebivudde mu lutuula lwa leero, nga bwebalinda entuula ezinaddako wakati w’abasomesa n’abakozi abalala.
Ebyo nga bikyali bityo, ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo ekya UNEB, kirabudde abazadde ku nsalessale wokuwandiisa abayizi akomekkerezebwa enkya, nga 30 June, nti abaana abanaaba tebewandiisizza boolekedde obutatuula byakamalirizo omwaka guno.
Jennifer Kalule Musamba, agambye nti okuwandiisa abayiz kwali kukoma nga 31 May, wabula nebabongera ebbanga lya mwezi omulamba era ligwako nga 30 June,2022.