Mu program Entanda ya Buganda eya 25.10.2022 , abamegganyi Nakanwagi Ikilimah eyafunye obugoba 21 ne Sseppuuya Moses eyafunye obugoba 16, baayiseewo okwesogga olumeggana oluddako, ate Katamba Anthony eyafunye obugoba 14 yawanduse.
Entanda ewagirwa Home Connect Properties Uganda Ltd.
Ebibuuzo :
1. Ensonga bbiri ezireetedde obuwangwa bw’Abaganda okukyuka – Okujja kw’abazungu n’okukugira Olulimi oluganda okusomesebwa mu masomero.
2. Enziisa kyekki? Ente omuntu aba afiiriddwa omuntu, gyawa nnannyini ttaka amukkirize aziikeko omuntu we.
3. Lubaale bwakusaba oluvu omuwa ki.- Omunnyo.
4. Olugero: Empemukira busa – Esuuza enkoko ejjanzi.
5. Omuntu alina embiro nga tezisalako, muwe eddagala ery’ennono – Enkami.
6. Omwami w’essaza Kyaddondo eyafudde yasikira ani mu bukulu obwo? – Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.
7. Omwezi Mukulukusabitungotungo gumala ennaku mmeka – 31.
8. Emigaso ebiri egyemizizo gy’Abaganda – Giyigiriza empisa, n’okutambulira mu buwangwa bwaffe.
9. Ensimbi nnannyini ttaka zaawa ow’ekibanja bwaba ayagala okweddiza ekibanje kye – Ennunuza.
10. Empingu ku ttu ly’emmwanyi enfumbe – Akaayi akasiba ettu ly’emmwanyi.
11. Omwami eyalondeddwa okugira ng’akuuma essaza Kyaddondo – Hajji Matovu Magandaazi.
12. Olugero: Ow’ensalambi – Akukwasa mu nnyama.
13. Omuntu alwadde omusujja aguwonya atya nga yeeyambisa obutonde – Anywa Omululuuza n’okweyoteza.
14. Omwezi mwetukuliza amatikkirwa ga Kabaka gumala ennaku mmeka – 31
15. Omulembe guno omutebi II gusibusizza gutya ennono n’obuwangwa? – Nga bassaawo Radio nga CBS, Okwetaba mu kuzzaawo obutonde ng’okusimba emiti.
16. Enjawulo y’ebigambo, Obusuulu n’envujjo – Obusuulu ze ssente omusenze zaawa nnannyini ttaka buli mwaka ate envujjo by’ebintu ebikalu omusenze byawa nnannyini ttaka buli mwaka.
17. Lubaale bwakusaba endiga nga togirina, bwomuwanjagira nakuddiramu, omuwaaki? – Omuwa eddiba lyayo.
18. Amannya g’omwami w’essaza Kyaddondo eyafudde gyebuvuddeko – Kaggo Owek. Agnes Nakibirige Ssempa.
19. Olugero Entabalirira – Emala amazzi mu lwendo.
20. Omuntu eyeerumise omuwonya otya mu nnono – Omugamba neyeebaka nga yeegalise.
21. Omwezi mwetukuliza amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gulina ennaku mmeka – 30
22. Oluwampa ku mbuzi kye ki? – Kafecce.
23. Olugero: Akanyigo akakwata embwa – Omuyizzi takamanya.
24. Omwenge ogwekkaada – Omwenge ogukuze ennyo.
25. Akatale akaatuumwa Munaku e Nnabulagala kayitibwa katya – Munaku eyeegulira yaalya ekiwera.
26. Omuganda bwaba alima enkumbi n’etema ku jjinja ajjukira ki – Nti awo waazikibwawo omuntu.
27. Obulwadde bw’akababi bujjanjabwa n’evvu eriva mu kisanja, ekikolwa ky’okwokya akasanja kiweebwa linnya ki? – Okwokya akayiira.
28. Abaganda bagamba nti ekika ky’ettooke lino tekiwaatibwa – Mukubyakkonde.
29. Kizira okukuba omwana ali ku bbeere, okujjako ng’akulumye, bwokikola kiki ekibaawo – Kitegeeza nebwalikula ajja kuba tatya bibonerezo.
30. Mu nte mulimu ekitundu ekiyitibwa “enni” – Ekibumba.
31. Amakulu g’emberenge – Omubisi omutali mazzi, kasoooli omukalu, n’empeke zakasooli enkalu ezisiikiddwa.
32. Abaganda kiwuka ki kyebayita bba w’ebiwuka – Nnabe.
33. Ettooke eriva ku kitooke kino terigendera mu Makula – Nakitembe.
34. Omuganda eyayiiya olubugo alina ekika ky’omutuba mweyalukomaga – Kaboga.
35. Olugero: Atakirambudde – Yaakiyita ekikootezi.
36. Kimenya empisa y’ensi omuntu okusikira atali wa musaayi ggwe, kiyinza kukolebwa ddi? – jjajja omukazi nga yawasibwa talina bantu be, omwana wa mutabani we omuwala asobola okusikira jjajja we.
37. Akawujjo kebanywesa omubisi ku ssogolero, bakakola mu ki – Mu kyayi.
38. Mu nte mulimu ekitundu kyebayita akaggula – Kuberako olulimi, omumiro n’omutima.
39. Engabo Mukwenda gyakwasa Kabaka ng’atikkirwa, yayisa Mukwenda Ssaabagabo, eweebwa linnya ki – Kaamaanyi.
40. Mu bikoco by’Abaganda mulimu ekigambo “lya”, kitegeeza ki? – Kwagaliza kulya bwami.
41. Mu lulimi oludda ku bugole, mulimu eky’omugole okubula, kitegeeza ki? – Ye Mugole okubeera mu kisenge.
42. Ab’embogo bawanuuza nti waliwo akatiko akamera mu busa bw’embogo – Endeerwe.
43. Mu lulimi lw’ebayizzi mulimu ekigambo Obujumbi, kitegeeza ki? – Ze ngoye z’abayizzi zebagenderamu okuyigga.
44. Olugero: Emmese engenyi, – Teyeesimira bunnya.
45. Ekisoko: Okutema empenda, Okutandikawo ekintu nga kibadde tekiriiwo.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.