Program Entanda ya Buganda eweerezebwa ku cbs 88.8 ne ku mukutu gwaYoutube Cbsfm ug official ewagirwa Home Connect Properties Uganda Ltd.
Abamegganyi; Ssemaganda Gerald eyafunye obugoba 24 ne Boogere Richard eyafunye obugoba 21 bayiseewo okwesogga olumeggana oluddako ate Kabuuka Jamiru eyafunye obugoba 17 yawanduse.
.
Bino byebibuuzo ebyabuuziddwa mu ntanda eya nga 02 December,2022:
1. Ebintu okuba ng’obutta kisoko, kitegeeza ki? – Ebintu okuba nga bingi nnyo.
2. Abakomazi balina ekigambo ttiiku, kitegeeza ki? – Ekigoye kyebambala nga bagenda okukomaga.
3. Kabaka bwawa Katikkiro Ddamula, olwo Ssaabalangira n’amuwa ki? – Omuggo Ssegulira ennume.
4. Lumonde ayitibwa Nnamaziina, y’aba atya? – Lumonde aba abaze ennyo.
5. Omulunzi w’ebisolo bya Kabaka omukulu aba yeddira ki? – Ngeye.
6. Embuga enkulu ey’essaza omukyasembye okukuŋŋaanya omusaayi okw’ekikungo – Ssembabule.
7. Amannya ag’obuntu ag’omwami w’essaza eryanywedde akendo mu masaza mu mpeereza y’emirimo – Ssekiboobo Elijah Boogere.
8. Ekiwuka Abaganda kyebayita ffulula biswa – Nnabe.
9. Abayizzi bakola mukolo ki bwebayigga embogo okutangira embogo okubalulumira – Omutwe gwayo bagwokera ku ttale.
10. Amakulu g’ekisoko, Okulya amaluma n’enseko – Kubeera mu bizibu naye ng’olinga ageeyagaliramu.
11. Amakumi gaba n’ebifo bimeka – Bibiri.
12. Ekintu abaana abalongo kyebafaanaganya n’enswa – Kubuuka.
13. Omuti omwelamannyo gwetangira gutya ebitonde ebirala okugutuusaako obuzibu – Guba n’amaggwa.
14. Omwaka guno Makerere University erina ebikujjuko, byaki? – Eweza emyaka 100.
15. Waliwo ekiwuka abawala kyebalumisa ku mabeere gaabwe gasobole okusuna, kyekiriwa? – Enfuuyirizi.
16. Okwogera ebyattalatatta kitegeeza ki? – Okwogera ebitakwatagana.
17. Ekizembe omutuula olukiiko lw’abalangira n’abambejja ab’e Busiro kiyitibwa kitya? – Kigango.
18. Ekintu Kabaka Mwanga kyeyakola ekikyalabwako n’essaawa ya leero nga kikuuma obutonde – Yasima ennyanja.
19. Mu maka g’Omuganda mulimu ekintu ekiyitibwa Mpologoma-ensinzidde – Ky’ekitanda ekirina ebikondo ebyewese nga bikiyingidde mu nda.
20. Ebintu bibiri ebikalubya omulimu gw’okunoonyereza naddala ku buwangwa – Abasinga ababimanyi bafudde ate n’ebimu tebyawandiikibwa.
21. Abasawo b’okubyalo abayitibwa VHT, ennukuta ezo zirambulule – Village Health Team.
22. Bwewabeerawo obutakwatagana mu b’oluganda wafumbibwawo ekijjulo, kiyitibwa kitya? – Muzzanganda.
23. Omusajja bwafiirwa omukazi, mu bbanga nga tannazzaawo mukazi mulala, aweebwa linnya ki? – Mulangambi.
24. Omuntu akoze omulimu asaana mpeera, omukeeze aweebwa ki? – Endeku y’omwenge.
25. Bitooke ki byebayita entembo – Ebitooke ebito ebitannatandika kussa.
26. Mu program Bwakedde Mpulira eya jjo nga 2.12, Abu Kawenja teyasobodde kubeeramu, Ani yagikoze – Yagibaddemu.
27. Olugero: Lubaale maliba – Buli omu alyambala bubwe.
28. Omulembe ba lubaale webaatandikira okuvaayo e Ssese okujja ku lukalu – Nakibinge.
29. Edda omulenzi bweyafunanga ekibanja yabanjibwanga ebintu eby’enjawulo, tuweeyo ebikulu bibiri – Omukazi n’omusolo.
30. Omulenzi avubuse era ng’atuuse ekiseera ekiwasa omukazi kyokka n’atawasa aweebwa linnya ki? – Endawule.
31. Mu bintu omukazi Omuganda byeyayambalanga temwabulangamu Masiira, Amasiira kyeki? – Ebyokwewunda.
32. Empiso Abagiriinya gyebeeyambisa okusona enguugu ya Kabaka eweebwa linnya ki? – Omuyindu.
33. Ow’e Bbembe kisoko kitegeeza omubbi, ow’e Bbembe yaani? – Musikula.
34. Olugero: Omutongole ngabi – Eyitira ginnaazo abassi.
35. Mu lulimi lw’abanywi ba taba, mulimu ebigambo bino “Mpa ku kaba” – Aba amusaba ku taaba asikeko.
36. Omuntu gwebayita omutuutuuli, yaba afaanana atya? – Ye muntu omumpi ennyo ate nga munene nnyo.
37. Lubaale gwebayita Ssemunywa alina erinnya eddala, lye liriwa? – Lubaale Musoke.
38. Omusajja omukulu ddala ayagaana okuwasa omukazi aweebwa linnya ki? – Omulangaasa.
39. Embuga y’essaza Buvuma esangibwa ku kyalo ki? – Majjo.
40. Ennyonyi Abaganda gyebagamba nti tegwa lwoya yeeriwa? – Kunguvvu.
41. Omuntu Omuganda gwayita ttibitibi, yaliba atya? – Omuntu omuddugavu ennyo.
42. Ekikolwa ekyokussa enseke bbiri mu ndeku emu kiweebwa linnya ki? – Okulemba.
43. Ekitooke Abaganda kyebayita Mwana-akufe kirina erinnya eddala – Mbwazirume.
44. Waliwo Nnamasole ow’obuggya eyasinziiranga ku lusozi lwe n’alengera ebifa mu lubiri lw’amutabani we, yaani? – Muganzirwazza.
45. Emigaso emikulu ebiri mu nnono egiraga obukulu bw’ekiraamo – Engabana y’ebintu by’omugenzi ne Kiraga anaddira omugenzi mu bigere.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K