Mu program Entanda ya Buganda eweerezebwa ku CBS fm radio 88.8 ne CBSFM UG Official Channel ku youtube; abamegganyi Kabuuka Jamiru eyafunye obugoba 27 ne Kyeyune Richard eyafunye 26, baayiseewo okwesogga olumeggana oluddako ate Ssaalongo Kulazikulabe Andrew eyafunye 8 yawanduse.
Program Entanda ya Buganda ekutuusibwako Home Connect Properties U Ltd.
Bino byebibuuzo ebyabuuziddwa:
1. Ensonga eyinza okuvaako okukyusa ekifundikwa – Ssinga omusika alwala n’ayonooneka omutwe.
2 . Olugero luno lutuyigiriza ki, Eyebikka ebbiri tamanya walumu – Bwoba ng’olina ebintu ebirungi kirungi oyambe abo abali mu mbeera embi.
3 . Lambulala ennukuta zino – KCCA, Kampala Capital City Authority.
4 . Tereeza Sentensi eno mu lulimi Oluganda olutuufu era olw’ennono, Abaana bonna abakoze omusango bagenda kubonerezebwa – Abaana bonna abazzizza omusango.
5. Nga 8/10 luba lunaku lwa byafaayo mu Buganda, luba lwaki – Tuba tujjukira Ameefuga ga Buganda.
6. Kabaka bwaba atikkirwa e Buddo Nnaggalabi, waliwo Omutaka amunaanika Eggotto, tuwe erinnya lye ery’ennono – Omutaka Nnankere.
7 . Omuntu gwetwogerako mu kisoko nti Eŋŋaaŋŋa yamusenga ku mumwa yaaba atya? – Ye muntu agaana buli ekimugambibwa.
8 Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo kinoso – Ekiwuka ekibeera mu mazzi ate n’omunwe gw’ettoooke eryengera nga libadde terinnakula.
9 .Tuwe ekiwanuuzibwa ku linnya kasooli – Omwana okusanga kitaawe ng’afudde oluvannyuma lw’okulya kasooli.
10. Ekyokuyiga ekiri mu lugero, Gwolulambuza yalusalako – Gwoyita munno ate asobola okukutuusaako obulabe.
11. Amannya ga vice president wa Uganda – Rtd. Maj. Jessica Alupo.
12 Ekifo webakwata enseenene wayitibwa watya? – Luttiro.
13. Tereeza sentensi, Lumonde aboobedde – Lumonde awolottadde.
14. Omuganda muti ki gwayita ekikkaliro kya Kiwanuka – Mukookoowe.
15. District ssatu ezisangibwa mu ssaza Ssingo – Mityana, Kiboga ne Kassanda.
16.Olunyiriri bweruba lwagala okufuuka omutuba lusaba ani? – Omukulu w’omutuba gwennyini mwerusangiddwa.
17 Ekyokuyiga ekiri mu lugero: Bwottottola ebiri ku kyalo, bwolwala obulwa alumika – Lutuyigiriza okubeera ab’emmizi n’otamala googera buli kintu.
18. Enkumi bbiri mu nsanvu mu miwendo – 2070
19. Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekya 2023 kitandika ddi – Nga 5 January 2023.
20. Eddiba lyebasambirako ttaba talyerabirayo, ebigambo ebisaziddwako omusittale bisikize n’ekigambo kimu – kyanjo.
21. Omuzizo ku jjajja omukyala n’omwana wa muwala we – Omwana wa muwala we asobola okusikira mukoddomi we, omwana oyo n’aba ng’amuzira.
22. Amannya g’omwami w’essaza omukuumirwa Abalangira mu nnono ya Buganda – Kasujju Mark Jjingo Kaberenge.
23. Mu lulimi lw’abafumbi b’emmere mulimu ekigambo Omwolo – Ge mazzi g’emiziŋŋoonyo.
24. Omulembe ogwatongoza abasajja okwambala empale empanvu – Muteesa I.
25. Omuzizo gumu ku kukama ente – Omukazi takama nte.
26. Olugero Abakulu balya bulung – y’agwa n’olusuubo.
27 Ekisoko kitegeeza ki? Okutuzza eriiso – Okubeera n’ekizibu naye nga teri ayamba.
28. Mu lulimi lw’abanywi ba ttaba, mulimu ekigambo entaago kyeki? – Ensawo omuterekebwa ttaba.
29 Kabaka ki eyatandikawo Obwakasujju – Ssekabaka Mutebi I.
30 Amannya ag’obuntu ag’omwami alina ekitiibwa –Wakayembe w’Obwakabaka – Hajji Sulaiman Magala.
31 Kabaka wa Buganda gwebaakazaako erya Kirevu-Ntende – Daniel Mwanga Basammula Ekkere.
32 Olugero: Ebisula byefuula – Omutabaazi yefuula omwayi.
33. Omuganda kiki kyayita ekikutuzi – Ekiku.
34. Omuzizo gumu ogudda ku kizibwe ne kizibwe – Tebakwatagana mu ngalo.
35. Eryato erisibwako engoye lisobole okutambuzibwa empewo liyitibwa litya? – Eryato ery’ettanga.
36. Ekisoko Okusuula ensika kitegeeza ki? – Okwenyweza.
37. Omuganda amazina g’ekisaanyi yagawa erinnya, lyeririwa? – Ffunduukululu.
38. Amannya ag’obuntu aga Ssaabagabo wa Buganda – Mukwenda David Nnantajja.
39. Oli bwebamwebaza nti Kiwe omutemero, ye addamu atya? – Kisse enkota.
40. Ekita omussibwa omwenge gwa Kabaka kiweebwa linnya ki? – Mwendanvuma.
41. Mu lulimi oludda ku baana, kiki kyebayita obuzoota – Obubi bw’omwana omuwere.
42. Ekisanja bwebakisulako mu kibi kiweebwa linnya ki? – Amasanja.
43. Olugero: Kamwenyumwenyu – Wambwa kaafuna mu lumbe lwa wante.
44. Ekisoko: Okuwa omuntu omutemero kitegeeza ki? – Okumuwa omusingi omulungi.
45. Abaganda kuva dda batuuma omuntu erinnya okusinziira ku mulimu gwakola- Mawuugulu aba akola mulimu ki? Aba abika bafu ku kitundu.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.