Mu program Entanda ya Buganda nga 30.12.2022, abamegganyi; Tebuuseeke Gerald eyafunye obugoba 23 ne Buwemba Julius eyafunye obugoba 22 bayiseewo okwesogga olumeggana oluddako, ate Ssaalongo Kasozi eyafunye obugoba 11 yawanduse.
Entanda ewagirwa Home Connect Properties Uganda Ltd.
Bino byebibuuzo ebyabuuziddwa:
1. Omuzizo gumu ku mwana omulenzi nga gwekuusa ku ffumbiro – Omwana omulenzi tagenda nkoto wa Kyoto.
2. Oluyoola lw’omuwemba olumu ng’okozesa engalo oyongere ku mwenge luyitibwa lutya? – Ekiyi.
3. Okunaaba amaaso ku musulo kisoko, kitegeeza ki? – Kukeera nnyo.
4. Enkumbi bwesiriira efuna amannya amapya, tuweeyo amannya amalala – Akasimo oba akakongolijjo.
5. Eddwaliro eryasooka mu Uganda lyazimbibwa ku mutala ki? – Mmengo.
6. Amasomero gafutyanka gatya eby’obuwangwa n’ennono? – Okutiitiibya ennyo olulimi olungereza, Okuwa baana ebibonerezo eby’okulima nga boogedde oluganda.
7. Ekyokuyiga ekiri mu lugero, Amala okugwa yaamanya weyandiyise – Lutuyigiriza okusookanga okwekkaanya byetuba tugenda okukola okwewala obuzibu.
8. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okufuuka Ow’e Malongwe – Okuba Omuwuulu.
9. Olusenyi olwawula essaza Kyaddondo ne Kyaggwe ng’okutte oluguudo olutongole? – Nnammanve.
10. Baani abayonda emiyondo abambowa gyebeeyambisa okusiba ab’ekyejo? – Ab’engabi Ennyunga.
11. Ssekabaka Muteesa II bweyawangangusibwa mu 1953, waliwo abasajja abaagaana okumwa ebirecu, be baani? – Kyayerambuga.
12. Ebintu bisatu ebirina omugo.- Ekibbo, Entamu n’ekisero.
13. Wandiika ekigambo, Goggolimbo – Goggolimbo.
14. Ekyokuyiga ekiri mu lugero, Atamanyi mpewo y’emagombe olusanja ajja n’alumu – Obutamanya bizibu bannaffe byebagwamu kituleetera okubayamba ekitono.
15. Okwekola omuntu kisoko, kitegeeza ki? – Kwenyumiriza mu muntu.
16. Omwana omulenzi omukkakkamu ng’agenda avubuka atannaba kulabankana mu byabawala ayitibwa atya? – Enteeka.
17. Waliwo ekisolo Abaganda kwebagamba nti kiwaatula endala kyekiriwa – Ffumbe.
18. Omunnyo ogwannakasa Omuganda agukola mu ki? – Mu bbumba.
19. Waliwo akayimba akaayeeyanga omuntu ayabanga alumiddwa ku nvunza- – Mabebbere mpa ku nvunza.
20. Omuganda akekkeza atya erinnya Ssemaato – Sseema, oba Maato.
21. Waliwo Omulangira eyazaalibwa ebweru wa Buganda oluvannyuma n’afuuka Kabaka, tuwe erinnya lya Nnamasole we – Wannyana.
22. Omukulu akola ku nsonga z’abagenyi mu Bwakabaka bwa Buganda – Omukungu David Ntege.
23. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo kuswankula – Okulya ng’ovaamu eddoboozi, n’ettooke okussa akatooke akatono ennyo.
24. Gyonoonyeza olukato – akujjukiza lwewamumma ekibbo.
25. Program Ekubirizibwa Mulemi Julius ku ssaawa musanvu eyitibwa etya? – Ggaggawala.
26. Okuwunya ku migereko kitegeeza ki?- Kulya wano nawali.
27. Ennyumba bugagga bukomye yeeriwa? – Ennyumba ennene ennyo nga yalema nnyini yo okumaliriza.
28. Erinnya eddala Omuganda lyeyawa Obutiko obutundatunda – Nantunda.
29. Okukwata omukulu mu kirevu – Okumanyiira omuntu omukulu.
30. N’amapeera galimu ebika, tuwe ebika bisatu – Nnamusaayi, Nnamata n’eryomunnyo.
31. Olugero: Kakande ka nnyoko – kakira olwa muka kitaawo olubikke.
32. Amawulire g’ebyobusuubuzi ku 88.8 olwaleero gasomeddwa ani? – Ssebuliba Julius.
33. Omuzizo gumu omukulu ku bufumbo bw’abalongo – Abalongo tebafumbiriganwa.
34. Ani Kabaka wa Buganda eyatuuma ettaka ku kibuga kye kiveemu olusozi – Ssekabaka Ssuuna I.
35. Okuwunya ku gwa ddyo kisoko kitegeeza ki? – Okulya emmere.
36. Mu lulimi oludda ku Kabaka tetugamba nti Kabaka yeebase tugamba tutya? – Awummudde.
37. Omulangira Lumansi teyasikira Bwakabaka wabula yazaala omulangira eyalya engoma. Yaani? – Omulangira Ttembo.
38. Omuganda bwaba ayagala okuwuntuwaza ekitonde ekitali muntu, akola atya? – Ateekako ennyingo Wa.
39. Omukazi Ow’olubuto emmumbwa aginywa afukamidde, kirina makulu ki? – Omwana gwanaazaala bwakula abeere mukkakkamu.
40. Ku lubiri lwa Kabaka kubeerako omulyango Wansanso, ani agukuuma – Ssaabagabo.
41. Emmere ey’omuzizo bagigabulira wa? – Bagigabulira mu lusuku.
42. Engeri bbiri ez’ennono omwana Omuganda kwamanyira nti Kadoma akuze? – Okukubako n’awulira ng’awuuma, era azimbako akasekese n’ekawanvuwa.
43. Abeddira ennyonyi Endiisa balina Obutaka e Mukungwe mu Buddu, jjajja bwe yaani? – Ye Mutaka Kaliika.
44. Omuwemba oguyitibwa ogwekiwombojjo gweguba gutya? – Omuwemba ogusekulwa mu kinu nga simusiike negwongerwa ku mwenge.
45. Ebyokulya tebyandeeta – Omugenyi akiina nnyini mu.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K