Mu program Entanda ya Buganda mu kiro kya 27.10.2022 ku 88.8 FM, abamegganyi Ssaalongo Kulazikulabe Andrew eyafunye obugoba 25 ne Kafeero Paulo eyafunye obugoba 18, baayiseewo okwesogga olumeggana oluddirira, ate Namugambwa Adrian eyafunye obugoba 8 yawanduse.
Entanda ya Buganda ewagiddwa Home Connect Properties Uganda Ltd
Ebibuuzo ebyabuuziddwa:
1. Emigaso ebiri egy’ennono egy’embidde mu mbeera y’okufiirwa – Batemamu embidde esogolwamu omwenge gw’essuumwa, n’okubikira olusuku naddala nga nnyinimu y’afudde.
2. Ani yawandiika akatabo Enkuluze y’ennono Y’omuganda – Martin Luther Kato Mugambwa.
3. Olugero: Twagenda Buganda kulya nnyama – Gemaddu agassa emmandwa e Masajja.
4. Omuzizo ku ŋŋoma – Tetulwako.
5. Engeri Omuganda zeyeeyambisa okukuuma eddagala nga teryonoonese okumala ebbanga eddene – Alyanika aba okuliteekako evvu.
6. Amannya ag’obuntu ag’Omutaka Mugema akulira ekika ky’abeddira Enkima – Omutaka Charles Mugwanya Nsejjere.
7. Ekisoko: Okutemula ensiriŋŋanyi – Okulima ng’okozesa enkumbi.
8. Obulombolombo obudda ku gwoto ogukumwa mu kibi – Omujjwa yalina okutyaba enku, Nnyinimu bwaba y’afudde gukumwa wakati mu luggya.
9. Ani yawandiika akatabo Abaganda abedda – Dr. Adam Kimala.
10. Olugero: Gwonooyota – Togulinda kugwa manda.
11. Omuzizo ku ntamu y’Omuganda.- Tevuunikibwa.
12. Engeri omuganda zeyeeyambisa okukuuma ebijanjaalo nga tebyonoonese – Okubyanika nebikala bulungi, N’okubitereka mu kyagi.
13. Amannya ag’obuntu ag’omutaka Muteesaasira akulira ekika ky’abeddira Engo – Omutaka Ttendo Nnamuyimba.
14. Ekisoko: Okukola ekya Nnambwere – Okukola ekintu ekiswaza.
15. Emigaso gy’obuwangwa egy’ekitooke mu mpisa ezidda ku kufa – Bajjako obugogo obweyambisibwa mu kuziraga, Okubikira olusuku N’okuyunjaamu emmere.
16. Amannya g’omuwandiisi w’akatabo Mirembe.- Aloysius Matovu Joy.
17. Olugero: Mwana wa nnyoko – kaakuŋŋaanya kosiba.
18. Omuzizo gw’ekinu – Tekituulwako.
19. Muwogo akuumwa atya obutayonooneka ate nga tamwanise-Osima ekinnya n’omuziika omwo.
20. Amannya g’Omutaka Nnamwama akulira ekika ky’abaddira Ekkobo- Omutaka Augustine Kizito Mutumba.
21. Ekisoko: Okusiika akalimi-Okumatiza omuntu mu ky’omubuulira.
22. Omunwe gwa kasooli okuba nga gwassaamu bulungi empeke-Okuwanga.
23. Ekikolwa ky’okukungula obulo kiweebwa linnya ki?-Okukesa.
24. Abakazi ab’embuto bakyawa ba bbaabwe, kiweebwa linnya ki? – Okuwula.
25. Ebitundu by’effumu erijjuvu – Olunyago, Omuwunda, n’olulimi.
26. Ekisoko: Okubuuza embuga – Okuzza by’olidde.
27. Olugero: Eggwanga ery’okumpi – Terirwa kudda.
28. Kkoyi kkoyi, Nnina mukazi wange tasogola naye asengejja – Ekkovu.
29. Omuzizo ogudda ku mmere y’omuttaka -Teriirwako nva zirimu munnyo.
30. Obuviiri obubeera ku munwe gwa kasooli – Obubooya.
31. Effumu ery’oluyiringito – Effumu eritabeera na mugongo.
32. Ebika ng’akabbiro kaabyo Maleere -.Olugave n’Entalaganya.
33. Kalannamye mu nsolo kye ki? – Ensolo esangiddwa ng’efudde.
34. Ekitongole ekiwuliriza mu Lubiri kyalinanga mulimu ki? – Kuwuliriza abantu byeboogera naddala ebibaluma nebabizza embuga.
35. Bbusu kyekimu ku bitundu ebiri ku ŋŋoma, kyekitundu ki? – Webakuba.
36. Ekisoko: Okuba ow’Omukirwanyi – Kitegeeza okwambala n’onyuma lubeerera.
37. Olugero: Ebyobukanga biggwera awo – Kafumita bagenge waakufumitira w’omwejjiramu.
38. Kasooli okutandika okukalirira enviiri – Okuzikiza.
39. Olugero: Bakuloga mbiro – olya menvu.
40. Eŋŋoma ya Kabaka eyitibwa Nnakawanguzi evuga bigambo ki? – Ebbemba tekyala etabaalabutabaazi.
41. Omugonjo mu lulimi lw’abavubi – Amalobo agateekwa ku kaguwa nga mangi.
42. Ekisoko: Okusuula amatanga – Okuleka ky’obadde okola olw’emirembe gyoba otuuseemu.
43. Bwoba oyagala taaba awolobe okolaki – Omwanikako mu kakka.
44. Okuziika embidde mu ttaka zisobole okwengera – Okwalika.
45. Kiki kyebayita ekisimbiri mu lulimi lw’abalimi – Omusiri gwa taaba.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.