Entanda ya Buganda eweerezebwa butereevu ku radio CBS ku mukutu ogwa 88.8 ne ku mutkutu gwa youtube ogwa Cbsfm ug Official, ng’ewagorwa Home Connect Uganda Ltd.
Ebibuuzo ebyabuuzibwa nga 04.11.2022
1. Olugero: Sikyatta mukago – asula wa munywanyi we.
2. Akawuka k’omulembe guno akalumba ekitooke enkota n’eyengera yadde ng’ettooke likyali tto – Toduula.
3. Engeri enkulaakulana gyeyinza okutaataaganya eby’obuwanga n’ennono – Oluusi ereetera okusengula eby’obuwangwa ng’emiti egy’ennono.
4. Akasaanyi akalya amalagala ga lumonde kayitibwa katya? – Kannanga.
5. Omuwandiisi w’akatabo “Twejjukanye Oluganda” – Prof Ntanda Nsereko.
6. Enva omuganda zaayita ettimpa azikolwa mu ki? – Zikolwa mu bikoola by’amayuuni ga bwayiise.
7. Ekisoko: Okussa ku w’e Mbuule kitegeeza ki? – Kulya bintu byabanno ng’okozesa olukujjukujju.
8. Olugero: Siwanjaga – nga simukwate.
9. Ensonga egaanyisa ettooke lya nnakitembe mu makula g’embuga, – Ettooke lya Nnakitembe libeera n’obujonjo.
10. Olulimi lwetwogera nalwo lulina ebizibu byalwo, byebiriwa – Lukozesebwa mu mbeera embi ng’okuvuma n’okuwemula.
11. Akasaanyi akalya omunwe gwa kasooli – Ndiwulira.
12. Ani yawandiika akatabo Gwolulambuza, – Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu.
13. Waliwo enva omuganda zaayita omukono gw’embuzi zeziriwa? – Essunsa.
14. Amakulu g’ekisoko: Okutwala omuntu nga Mwanga – Okutwala omuntu mu mbeera nga teyeesiimidde.
15. Olugero: Sirya mbiririvu – Obutta yaasooka okubega.
16. Bwosanga olumu ku ndagala enkulu ku kitooke nga lwewumbyeko otegeera ki okusinziira ku biwanuuzibwa Abaganda – Omuzimu nti guba guwummuliddemu ko.
17. Ebintu ebiva mu kuvvoola obuwangwa – osobola okujjamu obulwadde n’okufa.
18. Akawuka akalya empeke y’ebijanjaalo – Kawuukuumi.
19. Omuwandiisi w’obutabo – Omulanga gwa Lawino – Prof Abass Kiyimba.
20. Enva zino omuganda aziyita bikunta byansiri – Bisoobooza.
21. Ekisoko: Okulya eky’engabo – Kuwangula banno naye ng’obawangulidde waggulu nnyo.
22. Ng’ensangi zino Abaganda beefunyiridde okuyiiya ebigambo, kigambo ki ekiyiiyiziddwa okutegeeza emmotoka – Kajiiko.
23. Abaganda balina omuzizo ogudda ku nkwale n’oluggya – Kizira okuyisa enkwale mu luggya.
24. Olugero: Kiyirikiti kirinnyibwa nabuwaze; – Embwa bagikirinnyisa efudde.
25. Kabaka eyagunjaawo obwami bwa Kayima e Mawokota, – Ssekabaka Kimbugwe.

26. Abalongo b’amaddugavu be baliwa – nga bakikula kyekimu.
27. Omuntu eyatondebwa nga wa bikula byombi aweebwa linnya ki? – Nnakisungwa.
28. Omutuba ogukulira ku muti omulala – Omulangira.
29. Lwaki omwana ayonka bwaluma nnyina kituufu amukube akayi? – Kumulaga nti bwanazzanga emisango mu maaso bajja kumubonerezanga.
30. Ekigambo abaganda kyebaayiiyizza okutegeeza pikipiki ennaku zino – Ddigi.
31. Tujja kuteesa n’obusubi bwerange, enjogera eyo yatandikira ku Ssekabaka ani? – Ssekabaka Ssuuna II.
32. Bwowulira omusajja omukulu ng’ayogera ku Nkerembe ze, aba ategeeza ki? – Abaana be.
33. Olukiiko lwa Ssaabataka Supreme Council lwatongorezebwa wa – Nsambya Youths Sharing Center.
34. Olugero: Kitentegere bwokisusumbula, – tokivaako nga tekikusiize masanda.
35. Omutima ogwebboota kisoko kitegeeza ki? – Okuba n’omutima omubi ennyo.
36. Empisa y’okuggya ba Ssekabaka obuba yakoma ku ani? – Ssekabaka Ssuuna II.
37. Mu lulimi lw’abavubi mulimu ekigambo “ppala” nga kidda ku lyato kitegeeza ki? – eryato erituulwamu omuntu omu.
38. Linnya ki Abaganda lyebaawa Sooda okuva nga baakamulaba – Sooda.
39. Mu lulimi lw’abalimi b’emmwanyi mulimu ekigambo Mbirabira – Emmwanyi ezengera nga sizon tennatuuka.
40. Omwana gwebaayita “eka bampita” yaaba atya – ye mwana alya ennyo mu kyalo olumala okulya ng’agamba nti eka bamuyita.
41. Olugero: Gwomma amazzi – omusanga ku ssengejjero.
42. Kkoyi kkoyi, ani yasooka omuganda okukola obusaale – Nnamunnungu.
43. Kabona wa Nnende ye Kajugujwe, yeddira ki era embuga ye eri ludda wa? – Wa Butiko, embuga ye eri Bukeerere.
44. Amannya abiri agaweebwa ebinyirikisi ebiziraga omufu – Ebinyira oba ebisuumwa.
45. Mu kwabya olumbe Nnamwandu asibwa olubugo, olubugo olwo luweebwa linnya ki – Ekibugo.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.