Bino bye bibuuzo ebyabuuzibwa mu program Entanda ya Buganda nga 19.10 2022.
Abamegganyi ye Boogere Richard ne Ssaalongo Kasozi Richard baayitawo okwesogga olumeggana oluddako ate Lumala David n’awanduka.
1. Engeri bbiri omuganda zeyeeyambisa okugoba ensanafu mu maka ge- Ayiwa evvu okwetolooza ennyumba, Akasuka amalagala ga lumonde ku nnyumba waggulu.
2. Amakulu ga mirundi ebiri eg’ekigambo “Nsaamu”- Emitaafu egibeera mu kyenyi ky’omuntu, n’ekintu ekyeyambisibwa okukomaga.
3. Ensigo z’akatiko ziweebwa linnya ki? –Enkanja.
4. Waliwo ekika ky’ekyennyanja nga kyo mu nkula kirina kyekifaananya n’omuntu, kyannyanja ki ekyo era kimmufaananya ki – Mmamba emufaananya amabeere.
5. Akabbiro k’abeddira emmamba Kakoboza kayitibwa Nnakawuka, Nnakawuka kye ki? – Eggongolo.
6. Waliwo omufuzi eyafugako eggwanga lino Uganda eyagamba nti “Kyemubadde mwagaliza embazzi kibuyaga asudde” Yusuf Lule.
7. Enkejje Omuganda gyeyeeyambisa mu kwabya olumbe, erina bukulu ki? – Olwokuba gyebaba baakozesa mu kwalulwa, kati baba bajookya, okuva n’enjogera nti eyakwalula esiridde.
8. Mpa enjawulo mu bigambo; Omusaayi n’ensanke – Omusaayi ogusangibwa mu muntu n’ebisolo, ate Ensanke gwemusaayi gw’omuntu ogusangiddwa wansi.
9. Omuzizo gumu ku mwenge gw’essuumwa – Teguterekebwako nnembe.
10. Waliwo ebigambo abaana byeboogera mu ngeri y’ekikwate nga balabye ente eziriko omulaalo – “Ente mulaalo, tezirina mayembe.
11. Amannya ga Katikkiro wa Buganda eyasooka okugenda e Bulaaya – Sir Apollo Kaggwa.
12. Olugero: Ziribbulukukira mu mabidde – Yeerabira enkenku.
13. Embeera bbiri ezikaluubirizza omulimu gw’obulunzi mu Buganda – Ebbula ly’amazzi olw’ekyeya, n’endwadde z’ebisolo.
14. Amaka g’Omuganda gabeeramu ebintu ebyenjawulo byeyeeyambisa okukola emirimu tuweeyo ebiva ku bimera – Olweyo, Ensaamu, endeku, ekinu n’ekita.
15. Enjawulo mu bigambo; Omubalami, eribalami-Omubalami gwemulambo gw’omuntu eyeesudde mu nnyanja.
16. Omuganda ayongera atya omugaso ku kasooli- Osobola okumukolamu obuwunga, Okusiikamu emberenge.
17. Olugero: Akujjukiza – akira akuvuma.
18. Erinnya lya Nnamasole wa Kabaka eyazaala omulangira eyawalirizibwa okugenda e Bunyoro apakase ejje aliwe olufuubanja? – Nnambi Nantuttululu.
19. Amannya g’Omuzira mu bazira eyaweebwa ettaka e Kayanja mu Kyaggwe- Kalema Kalikyejo.
20. Ekisoko: Okulinnya mu mmere – Kusanga nga balya.
21. Embuga ya Lubaale Kawumpuli esangibwa Buyego, Buyego kisangibwa mu ssaza ki? – Bulemeezi.
22. Olugero: Sseeguya – asula mwa nneeguya.
23. Emisago gy’endagala ezisaliddwa n’ekiwabyo – Tuzitunda netufunamu ssente n’okubikka olusuku.
24. Olugero: Lutta akuwagira – Nga lukumaze amaanyi.
25. Okukkirira emagombe kisoko ekyekuusa ku kufa, mpaayo ekisoko ekirala nga kirimu okukkirira nga kyekuusa ku kufa – Okukkirira e Zzangwa.
26. Ekika ky’Abaganda ekirina obutaka bwakyo e Wambaale mu Busiro – Nkima.
27. Lubaale Nnende okujja mu Buganda yayitawa? Yayita ku mazzi.
28. Ekisoko: Okukuba omuntu akagogo – Okumunyooma ennyo.
29. Kkoyi kkoyi, Omukono gw’omuzadde omukambwe ekisusse, guba gwaki? – Guba gwa kyuma.
30. Omusenero wa Kabaka omukulu aba yeddira Kibe, yaani erinnya lye ery’ennono? – Sseruti.
31. Oluusi oluggi olwomuti luyinza okugaana okweggula naddala nga lwagenzeeko amazzi, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki? – Kumera.
32. Waliwo Kabaka eyapaatiikibwako erinnya Nnakuzaaleero, yaani?-Mwanga II.
33. Mu lulimi oludda ku balunzi mulimu ekigambo Kossi” – Akamyu akato.
34. Ekitongole ekyamuzi, kyabanga na bukulu ki mu lubiri? – Okwoza engoye za Kabaka.
35. Mu lulimi lw’abasamize mulimu ekigambo endyabuule, kitegeezaaki? – Mbuzi.
36. Omuti Kinene gwabyafaayo wano mu Buganda, gusangibwa wa? – Busuubizi mu Ssingo
37. Essubi lyebatema ku ttale nga bagenderera okulibikka mu lusuka liweebwa linnya ki? – Essisiro.
38. Omuntu agera nga banne banaatera okunnyuka n’abeegattako, aweebwa linnya ki? – Omujjakisana.
39. Olugero: Ganyegenya – Gakira amalibu.
40. Eryato ly’okumazzi lyebabajja nga balisima mu nduli y’omuti, lirina amannya agaliweebwa – Emmanvu oba Omulandira.
41. Mu lulimi lw’abavubi mulimu ekigambo amagonero – lwe luzzizzi olusangibwa mu kamwa k’empuuta.
42. Mu lumbe lw’omukadde omusajja, abako baleeta omwenge, ekyo kirina bukulu ki – Ababa baleese omwenge baba bazze kweyanjula eri omusika aba afuuse mukadde wabwe mu kiseera ekyo.
43. Mwattu ne Kabona wa lubaale naye amwebwa enviiri, kiyitibwa kitya? – Okusuula ejjoba.
44. Kiwanuuzibwa nti erinnya Nnamasolo lyava ku kitittiriri, kyekiriwa? – Kiggamasole.
45. Ebiyiriro by’omugga Ssezzibwa bisangibwa mu ssaza ki? – Kyaggwe.
Entanda Ya Buganda ewagiddwa Home Connect Uganda Ltd, abakugu mu kululaakulanya ettaka.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo. K.