Mu program Entanda ya Buganda eweerezebwa ku 88.8 ne ku mukutu gwa Youtube CBSFM UG Official, abamegganyi Bugembe Nasuru eyafunye obugoba 23 ne Kalemeera Festo Zimaze eyafunye obugoba 17, baayiseewo okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Kafeero Paul eyafunye obugoba 14 yawanduse.
Entanda ewagirwa Home Connect Properties Uganda Ltd.
Bino byebibuuzo ebyabuuziddwa nga 28.11.2022.
1. Emiziro gy’Abaganda ebiri nga gisangibwa mu maka – Embwa n’ente.
2. Tiles ezeeyambisibwa mu kuzimba omuganda aziyita atya? – Obuggyo.
3. Lukeberwa lyerimu ku mannya agaweebwa Kabaka, lyagunjizibwawo ku mulembe ki? – Ssekabaka Muteesa I.
4. Omuganda omunnyo ogw’ensero agukola mu ki – Mu ssubi eriyitibwa eggugu.
5. Akawalaata akakwata wakati w’omutwe, abaganda bakawanuuzaako ki? – Bagamba nti omuntu oyo ajja kuba mwavu.
6. Ebintu bibiri ebikyuse mu mpisa y’okuwasa mu Buganda – Omuko teyaziniranga ku buko, n’ebitwalibwa ebimu bikyuse nga biringanya teyatwalibwanga ku buko
7. Obuyiiya bw’Omuganda bulabikira butya mu kubumba – Engeri gyabumbamu ensumbi ey’omumwa omutono ennyo ng’omukono tegusobola kuyingirayo mu nda.
8. Amannya ga Munnamawulire wa Ssaabasajja Kabaka – Omuk. Sam Dick Kasolo.
9. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okubeera Ow’embalwa – Kitegeeza Omuntu atali muwulize.
10. Akabbiro k’abasenero b’embuga – Kassukussuku.
11. Amannya g’ebisaanyi asatu – Ssekkesa, kalelabaana, kyomya.
12. Abalunzi b’ente bateeka omunnyo mu kifo naddala ekiswa, ekikolwa eky’ente okukomba omunnyo kiweebwa linnya ki? – Okuguga.
13. Ekyokuyiga ekiri mu lugero, Lubaale agoba nsonga nga takuttidde wuwo – Abantu ekintu bwekiba tekimukutteeko butereevu tafaayo.
14. Omuganda asinziira ku ki okutuuma amannya? – Ekika ky’omuntu, n’abalala bagasimbula mu ngero.
15. Kabaka tebamunyumiza, bamukola ki? – Bamuloopera.
16. Amasaza omuntu ava e Buweekula gaayitamu okutuuka e Kyaddondo – Buweekula, Ssingo Busujju, Mawokoto, Busiro n’atuuka mu Kyaddondo.
17. Waliwo Kabaka eyalina amannya gano, Wakyato, Byomere, Wakyama, yeyali ani? – Kimera.
18. Enkoko eyamagulu amampii ennyo eweebwa linnya ki? – Nkwekwe.
19. Abantu abalina kyebagenze okunona bwebakomawo nebagamba nti Zigombye ntulege baba bategeeza ki? – Kyebaba bagenze okunono baba tebakifunye.
20. Ensolo lubenda yeeba etya? – Ensolo gyebayigga ng’eri ggwako.
21. Embeera Omusajja wasulira ku kitanda Ggandalyassajja ng’omukolo – Omusajja bwaba mu kiseera ekyobwerinde.
22. Ekyokuyiga ekiri mu lugero: Ataakulaba akunyooma – Omuntu bwaba teyakulaba mu biseera ebyasooka aba akunyooma.
23. Okunyumya Olundokooli kitegeeza ki? – Kunyumya kiboozi ekitalina makulu.
24. Omutaka aweesa era akwasa Kabaka Empiima e Nnaggalabi yaani? – Mutalaga.
25. Mu mpisa edda ku kukubagiza, baani abakubagiza nnamwandu – Bakazi banne bebakulembera okukubagiza okwo.
26. Emiti ebiri egy’ennono Omuganda mwawanga effumu lye – Omumwanyi n’olusaala.
27. Mu lulimi lw’abayizzi mulimu ekigambo mukukumbo, kitegeeza ki? – Ekizigo okuttirwa ennyo ensolo.
28. Ku Mbaale e Mawokota kwabangako Omuti gwa Kibuuka, omuti ogwo guwanuuzibwako ki? – Bwebaamukuba akasaale mu muti ogwo mweyagwa.
29. Olugero: Bikalu bitaaka – ng’ejjinja ly’omukyoto.
30. Erinnya Nnaabagereka Kabaka Daudi Cchwa II okulituuma Kaddulubaale we, yalijja ku jjajaawe, jjajjaawe ono yali muka Kabaka ki? – Ssekamaanya.
31. Omuti gwebayita Etteketwe gweguba gutya? – Oguwaatudde.
32. Olugero: Abasajja bagaanye, – Nga yagaanye.
33. Mu mawulire g’Olwomukaaga oluwedde mwalimu Ekitundu ekidda ku mukolo ogwokutongoza Ekibiina Ebika Byaffe Foundation gwali luddawa? – Ku Hotel Africana.
34. Mu lulimi oludda ku mwenge gwa Kabaka mulimu ekigambo Ensikula, kitegeeza ki? – Endeku omubeera omwenge gwa Kabaka.
35. Wansi ku kkanzu kubaako omukugiro, guweebwa linnya ki? – Tonninyamu.
36. Ekisoko: Okukomba mu kibatu – Okukuba enduulu.
37. Ekikolwa ky’okukwata enswa ennaka ng’abwolya kiweebwa linnya ki? – Kubojjerera.
38. Mu maka g’Omuganda mulimu ekintu kyebayita ebbuukiro – Kyekitanda ekitongole eky’abafumbo.
39. Lubaale w’abalongo alina embuga enkulu wano mu Buganda, esangibwa mu ssaza ki – Ssese.
40. Ekisoko: Okusimba obwanda – Kubeera wantu n’olwawo nnyo.
41. Olugero: Ffe bamu – Bwakwata akaamunne assa mu nsawo.
42. Erinnya eddala eriweebwa obupande okuba obubonero bw’okunguudo – Ebyapa.
43. Olumu ebitoogo byekoleeza omuliro, omuliro ogwo guyitibwa gutya? – Nnamuyenga.
44. Taaba gwebanywera mu kisanja omuganda amuwa linnya ki? – Omusokoto.
45. Kkoyi kkoyi: Omutima gw’omuntu n’ekibbo bifaananya ki – Entobo.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.