Mu program Entanda ya Buganda eya nga 24.11.2022 ku cbsfm 88.8 ne ku youtube CBSFM UG Official, ku mutendera gw’olumeggana olw’okusatu, abamegganyi Muwulya Joseph eyafunye obugoba 30 ne Sserwadda Samuel 14 beeyongeddeyo ku mutendera oguddako, ate Sseruyange Emmanuel eyafunye obugoba 12, yawanduse.
Entanda ya Buganda ewagiddwa Home Connect Properties Ltd.
Bino bye bibuuzo ebyabuuziddwa;
1. Ennaku z’omwezi endwadde eyitibwa Ebola lweyalangirwa nti ezinze Uganda-20.09.2022
2. Olugero luno lutuyigiriza ki; Nnalukoola ali mu kibira amayu gaggya – Lutuyigiriza okubeera n’enkolagana ennungi ne bannaffe.
3. Oluyimba lw’ekibiina ky’Olulimi Oluganda.- Abantu ba Buganda mufube okukuuma Oluganda olwaffe olw’edda.
4. Ebika by’enva bibiri nga bigwa mu ttuluba ly’ebijanjaalo -.Empindi n’obuyindiyindi.
5. Tereeza sentensi mu Luganda olutuufu, Maama wa Kabaka twabadde naye nga bali wamu ne kojja wa Kabaka omukulu.- Nnamasole twabadde naye wamu ne Ssaabaganzi.
6. Okusinziira ku njogera z’Abaganda, enjuba erya, mukazi ki awa enjuba byerya? – Nabitalo.
7. Embwa ekola kikolwa ki omuganda alyoke akitapute nti gyalaga teri buzibu – Ssinga yeegololera mu maaso ge ng’amagulu gali mu maaso.
8. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo okusuna – Oyinza okusuna ku ky’okulya oba okusunira ku munno amawulire.
9. Abalimi ba kasooli balina akayimba kebayimbira ekiwuka nga bakigamba okuva mu kasooli – Ndiwulira vva mu kasoole.
10. Ekyokuyiga ekiri mu lugero; Kati onsanze tonkasukira mbazzi – Tuyigiramu obuteesembereza bintu byetutamanyi bulungi kubanga biyinza okutuviiramu obuzibu.
11. Ssenkulu w’ekibuga Kampala – Mukyala Dorothy Kisaka.
12. Akalombolombo kamu ku nseenene.- Bwetumala okukongola ebyoya tubisuula mu masaŋŋanzira.
13. Tereeza sentensi mu Luganda olutuufu, Genda onfukire kyayi – Genda ontabulire kyayi.
14. Olunaku lwa jjo mu Program Gakuweebwamunno mwakyaziddwamu abakazi abalwanirira eddembe lyabantu, omulamwa gwabadde ku ki – Gwabadde gwakulwanirira abaana abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka.
15. Waliwo essaza lya Buganda eryalumbibwa mmongoota ku ntandikwa y’ekyasa eky’abiri – Ssese.
16. Ebika by’omuwemba bibiri ebirimwa wano mu Buganda – Nnamateera ne Kayini.
17. Olugero luno lutuyigiriza ki; Mulungi namulungi wabulawo asinga – Lutuyigiriza obutasalawo nsonga nga tonnaba kwetegereza.
18. Ekifo president Museveni weyakubira ekirayiro ekyasookera ddala – Ku madaala ga Parliament.
19. Obulwadde obukwata omwana omuwere n’afuna langi eyakyenvu – Kamuli.
20. Ekitundu ekisalirwa omuntu okulima mu nkola ya Bulungibwansi – Kituli
21. Ekisolo kimu ekibeera mu nsinko naye nga kigera obudde.- Mbogo.
22. Amakulu g’ekisoko: Okutuula entitibbwa Mirimu kyeyatuula e Ndejje-Okutuula mu kifo ekimu obutaseguka.
23. Omuzaana Nnannono amamanyiddwa nnyo wano yali wa Ssekabaka ani.- Nnakibinge.
24. Omutaka Kajubi alina ayambaza Kabaka olukwanzi ku mukono ogwa kkono e Nnaggalabi, amugamba bigambo ki – Amugamba nti ggwe Kimera.
25. Olugero, Embuga tesiibulwa – nga si muganzi.
26. Ennyama ya Kabaka tebajookya, bagikola ki.- Bawujja mpujje.
27. Ekisoko: Okulinnya mu mmere – Okusanga nga balya.
28. E Mpummudde Bbinikira eriyo Obutaka bw’ekika obukulu, Kika ki? – Njobe.
29. Emiti ebiri egizira okufumbisa – Omutula n’ejjirikiti.
30. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ebbonda – Ebikikya byomwenge n’obusngu.
31. Erinnya ery’ennono eriweebwa omumyuka w’owessaza Ssekiboobo – Nnamutwe.
32. Omuntu anaakola ekivuga ekiyitibwa enseege, yeetaaga ki okusinga? – Obusekende n’amalanga.
33. Empale Omuganda gyayita ey’olwenda yeeba etya – Ye mpale esibwa n’oluwuzi.
34. Erinnya lya Ssaabaganzi eyasookera ddala – Kafugankande.
35. Ekisoko: Okwesiba ekimyu – Kwenyweza.
36. Olugero: Ndiba nsaba ki – Mukoowessaza yasaba akooterezo.
37. Ekisoko: Okusira ekiyobyo Kuteganira bwereere.
38. Emiti giranga gitya nti enkuba eneetera okutonnya – Emiti egyo giggumiza (Okutandika okuleeta obukoola obuto)
39. Olugero: Ekisala obulungi – Kyekikuwa embikka.
40. Amakulu g’ekigambo ng’ogesigamya ku nnyama, Kagubaala – Ye nnyama ekaluba ennyo.
41. Ekisoko: Okujulira Ekiwu – Okujulira ewa Kabaka.
42. Mu lulimi lw’abayizzi mulimu ekigambo ekyoto, tuwe amakulu ga mirundi ebiri ku mbeera yeemu – Ekyoto okwokerwa ennyama n’omutwe gw’embogo guyitibwa ekyoto.
43. Omutaka eyagobwa Ssebwana ku ntebe ya Kabaka kweyali amaamidde – Omutaka Nnakku.
44. Enkata eteekebwa ku kati okumanya nti okumpi awo batundawo omwenge – Enkaaka.
45. Okuba mu ya Ssebadduka – Okuba mu mboozi enyuma ennyo.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.