ENTANDA YA BUGANDA: OLUMEGGANA OLW’OMULUNDI OGWOKUBIRI.
Entanda ya Buganda eweerezebwa butereevu ku mukutu gwa CBS FM 88.8 okuva Monday okutuuka ku Friday ssaawa 3:15 ez’ekiro, ne ku mutimbagano gwa CBSFM UG OFFICIAL ogwa Youtube.
Ebibuuzo ebyabuuziddwa nga 07.11.2022
1. Emigaso gy’omuzannyo gw’omweso egy’ennono – Tuguggyako engero n’okuyigiriza okubala.
2. Amakulu ag’ebuziba ag’olugero: Mpeesa kamwana ye mpeesa mbi – Twekwasakwasa nnyo obusonga obutaliimu netulema okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe.
3. Akayimba akayimbibwa mu muzannyo Ssekitulege – Ssekitulege ssekitulege amazzi g’ennyama.
4. Amakulu geegamu n’ekisoko ekikuweereddwa ; Okuyimbya endubaale – Okukooza akajiri.
5. Program ekolebwa ekibiina ky’Olulimi Oluganda ku 88.8 – Olulimi N’obuwangwa.
6. Ebizibu omulimi w’emmwanyi byasanga – Enkyukakyuka y’emiwendo n’obulwadde.
7. Ensi esalagana ne Uganda mu bukiika ddyo bw’obugwanjuba – Rwanda.
8. Emigaso gy’emipiira gy’ebika bya Buganda – Okumanyagana n’okutumbula talanta.
9. Amakulu amakusike ag’olugero: Mu butta temubulamu mpulunguse – Mu mbeera y’enkola y’emirimu tekisoboka kukola mulimu n’ogutuukiriza 100 ku 100.
10. Omuzizo ku muzannyo Ssekitulege – Teguzannyibwa baana bawala.
11. Ekisoko ekifaanana n’ekikuweereddwa – Okussa awatali ggumba – Okuwunya ku gwa ddyo.
12. Ani akubiriza program y’ekibiina ky’Olulimi Oluganda ku 88.8 – Godfrey Male Busuulwa.
13. Ensonga bbiri eziraga nti emmwanyi kimera kyawano kyadda- Bajjajja ffe baazirima era ziriko n’engero.
14. Ensi esangibwa mu bukiika ddyo bwa Uganda eyitibwa linnya ki? – Tanzania.
15. Emigaso gy’omuzannyo okubuuka ssonko – Bakola dduyiro omubiri neguba mulamu n’okuleeta essanyu.
16. Amakulu amakusike ag’olugero: Kyosimba onaanya kyolyako ettooke – Ekintu ky’okola ngasaaga oluusi okifunamu.
17. Ekintu kimu ku byeyambisibwa mu kukola Sekitulege – Akagoogwa n’akalebe.
18. Ekisoko ekifaanaganya amakulu n’ Embwa okugiyita Engwa – Okukongojja Omumbejja Namaalwa.
19. Program y’ekibiina ky’Olulimi oluganda ebeerawo ddi – Ku Sunday.
20. Emikolo gy’abaganda mingi tekubula mmwanyi, gyegiriwa – Okutta omukago, neku mukolo gw’okwanjulwa.
21. Ensi esangibwa mu bukiika kkono bwa Uganda eweebwa linnya ki? – Sudan ey’obukiika ddyo.
22. Ne leero abaganda bakyefunyiridde okuyiiya ebigambo, ekigambo Okuzoganya kitegeezaki?- Omuntu okumubuzaako emirembe.
23. Nnyonnyola bulungi omutuba gwebayita ogwennanda gweguba gutya? – Omutuba gwennanda gwegulokera ku mulandira nga gutambudde akabanga.
24. Akatiko akamera mu kisisiro kaweebwa kinnya ki – Nnassogolero.
25. Ekikata okutuula entamu – Ekitengu.
26. Ku mirembe Emyanga II, ani yakulembera omulimu gw’okusima ennyanja ya Kabaka e Mmengo? – Kaggwa Ndikumulaga.
27. Omukadde ayigga – Olutabaalo atenguwa lutenguwe.
28. Mu lulimi lw’abalimi entobo y’ensujju nayo erina erinnya – Nnawunu.
29. Ebigambo byoyinza okukozesa okutegeeza embwa ennyingi nga ziri wamu – Ekyogoobe oba ekikuuno.
30. Ekigambo ekiyiiyiziddwa nga kitegeeza omuserikale – Akasajja.
31. Ssekabaka Mwanga II bweyazaala omulangira, ani yanoonooza omulangira oyo alyoke atuumwe erya Ccwa, – Yali Mikayiri Ssebikoce.
32. Ekiwemula mbegera – Mmere kuggwa mu ddiiro.
33. Bwoba otambula neweekoona ekigere abaganda bakiwanuuzaako k i- Nti wabaawo akwogerako.
34. Amakulu g’ekigambo Omujjwa, Omwana mwannyoko gwazaala oba ekitooke kya gonja.
35. Ekikkaliro kya lubaale Ddungu guba muti, gweguliwa? – Jjirikiti.
36. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Ndiri – Kisobola okutegeeza ekifo ensolo y’omunsiko wesuze oba ekifo omulwadde waba ateereddwa.
37. Mu lulimi lw’abalunzi b’ente, kiki kyebayita ekimongwa? – Ekiwuka ekikulunga obusa.
38. Abaganda bayiiyia ebigambo nebabigatta mu lulimi lwabwe, ekigambo okutala afiya kitegeeza ki? – Kwewaayo kukola kintu .
39. Ekitiibwa ky’Obwa Nnaabagereka kyava ku muzaana kakaba ki eyavaako ekyo – Ssekamaanya.
40. Olugero: Bwebukya sibwebuziba, Enkoko ebuuza nnyiniyo omuziro.
41. Emmere emmandagaze yeeba etya? – Emmere y’amatooke ng’efumbiddwa nga yaminwe naye nga teyidde bulungi.
42. Ekika ky’e Kiwere, Omutaka akikulira aweebwa linnya ki? – Omutaka Luwonko.
43. Enkejjje eyitibwa Walulenzi erina bukulu ki wano mu Buganda – Yeyalula abaana ba Kabaka.
44. Amannya ag’obuntu aga Nnamasole ow’omulembe guno – Owek. Damalie Nantongo Muganzi.
45. Ekikoola ky’omuvule oba ebibajjo byebiteekkebwa mu kyogero ky’omwana omulenzi kiweebwa linnya ki? – Omuggumiza.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K