Mu Program Entanda ya Buganda eya nga 14.10.2022, abamegganyi Ssennono John Baptist eyafunye obugoba 29 ne Sserwadda Samuel 17 baayiseewo okwesogga olumeggana olwokubiri ate Sserwambala Aloysius eyafunye 07 yawanduse.
Bino bye bibuuzo byebamegganye nabyo.
1. Ekimuli ky’ejjirikiti –Enjuba y’ensiko
2. Olugero: Sserulume lubi – Luwasiza mu lugo lwalwo.
3. Pookino akulembera ssaza – Buddu
4. Kabaka Mwanga yasomako ku ddiini y’ekikatuliki naye teyabatizibwa kyokka yeetuuma erinnya – Leo.
5. Enswa ento – Entakke.
6. Eb’eddira embogo baba bakongozzi naye abakazi Baweeka.
7. Okutuuza ey’olukugunyu kitegeeza kubeera mu ssanyu, Ey’olukugunyu yenki? – Eŋŋoma
8. Olugero: Ataabalamunne – Nti bawe emiggo.
9. Ekimuli ky’ekitooke – Eŋŋo
10. Erinnya lya Ssekiboobo eddala – Mboobo
11. Kabaka Muteesa bweyakoowa okutta abantu eriyo erinnya lyeyeetuuma – Kuttakulimuuki.
12. Enkuyege ento – Ekikwenda.
13. Abagabo baba beddira ki? – Nte.
14. Okuba mu lw’e Bukaleeba kitegeeza obutaba mu mirembe, Olw’e Bukaleeba lwe luki? – Olutalo.
15. Okumulisa kwa ssere – Okwanya.
16. Olugero: Ssebakiina luwombo – Nti lukira ekibya.
17. Essaza eriyitibwa Ssaabagabo wa Buganda – Ssingo.
18. Ssekabaka Muteesa I yaliko omusiraamu yadde teyatoola Shahadu, era yeetuuma erinnya – Saidi.
19. Ekika ky’Abaganda eky’ababoobi – Mazzi
g’ekisasi.
20. Ekisoko: Okubaka enswera – Kugwa ddalu
21. Omulyango ku Lubiri lw’e Mmengo omuyibwa emirambo – Kizigo-kibi
22. Omuzizo ogudda ku lusolobyo – Tebalwazika
23. Ekibbo n’engabo birina kyebifaanaganya – Ekkundi.
24. Erinnya eriweebwa ensibuko y’omugga – Ensulo.
25. Eŋŋoma y’owessaza Mawokota evuga nti – Amawokota gankosa.
26. Ebintu omumbowa byateekeddwa okubeera nabyo – Oluga, Omugwa n’ekitala.
27. Abatawerekera mulenzi ng’agenda okwanjulwa – Taata, maama, Kojja ne ssenga.
28. Eŋŋoma “Kuzaalakuzibu yatandika ku mulembe gwa Nnamasole – Kannyange.
29. Obudde bwebuziba Kabaka n’abantu abalala tebayita mu Wankaaki, bayitawa? – Nnaalongo.
30. Olugero: Bakyawa mwannyoko – Osaba lubugo?!
31. Akalombolombo akakolebwa ku musika alina olubuto – Tatuula ku lubugo akwata lukwate.
32. Ekisoko: Okuwanika amatanga – Mbeera kubeera nzibu nnyo.
33. Ekimuli ky’ekajjo – Nabankema.
34. Omututumba mu lulimi lw’abakomazi – Omutima gw’ekitooke ogukozesebwa okususumbula omutuba.
35. Omuzima – Empafu eyengedde
36. Omuzizo ku mmere y’omuttaka ku baana abato – Omwana atannamera mannyo tagirya.
37. Omulyango ku Lubiri omuyita Namasole ne bannakazadde ba Kabaka – Kaalaala.
38. Ebisusunku by’obulo – Emisinsi.
39. Ba Kabaka bebayita Abawaŋŋami – Kiweewa ne Kalema.
40. Ekimuli ky’olusambya – Omwerula.
41. Ekigambo bwetwajja kyogerwa Omumbejja – Lubuga ng’akigamba Kabaka bwebaasika.
42. Olugero: Siva mabega – Ng’aliko ekyamukanga.
43. Ekisoko:Okulinnya ku kisiki – Okukola ekintu ekizibu ennyo.
44. Okwambala ekkanzu enteera – Okwambala ekkanzu okutali kkooti
45. Ebyoya by’enswa – Ebyayanga.
Program Entanda ya Buganda eweerezebwa butereevu ku cbs fm 88.8 ku ssaawa ssatu n’eddakiika 15 ez’ekiro, okuva monday okutuuka Friday.
Ewagirwa Home Connect Properties Uganda Ltd.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.