Mu program Entanda ya Buganda nga 20.10.2022, abamegganyi Kalemeera Festo Zimaze eyafunye obugoba 28 ne Kizito Innocent eyafunye obugoba 27 baayiseewo okwesogga olumeggana oluddako, ate Kizza Padrick Kiyondo eyafunye obugoba 12, yawanduse.
Ebibuuzo ebyababuuziddwa bye bino;
1. Mpaayo ebika by’emisota bibiri egitalina busagwa – Nnawandagala ne Kirumirampuyibbiri.
2. Okumulisa kw’entungo – Okusesema
3. Ani yawandiika akatabo “Kiyita waggulu” – Cranmmer Kalinda.
4. Olugero: Abala ennage – asookera ku emu.
5. Kizira bwoba olima n’olekawo akazinga k’omuddo, bwokikola kitegeezaaki? – Basobola okukulogerako.
6. Emigaso ebiri egy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka – Okusonderako ensimbi ku nsonga Kabaka gyaba asiimye okudduukirira, n’okujjuukirirako Amazaalibwa ge.
7. Waliwo Kabaka eyafugako Buganda ng’asinziira Jjinja mu Busoga- – Kabaka Kyabaggu.
8. Kabonero ki kwolabira nti ku kiggya kuno kuliko omuntu ataaziikibwako, nga yabula bubuzi – Kubeerako ekiteete.
9. Omugaso gumu ku ndiga ogwekuusa ku buwangwa – Endiga Muziro.
10. Olugero: Ekyange kimaze bbiri – Yaaliwa ebyomugenyi.
11. Waliwo enkata Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyeyakubye abantu b’omubizinga by’e Ssese – Yabawadde eryato.
12. Mbeera ki eyali etuuse mu ggwanga Buganda eyaviirako Kabaka Kyabaggu okuteekawo Omuggo Ddamula okuweebwa Katikkiro – Emmese zaali zirumbye Obuganda.
13. Omuganda bwabojjebwa omusota, bamuwa obujjanjabi obusooka nga tanneeyongerayo mu ddwaliro, zeeziriwa? – Okusiba waggulu w’ekifo wegulumye, asobola okubunuunamu ng’akozesa akalagala nebutayingira mu kamwa butereevu.
14. Ebibi bibiri ebyatuuka ku Buganda mu myaka 20 egyaddirira okuleetebwa kw’eddiini okujja – Waaliwo entalo z’eddiini n’okwawula mu bantu ba Kabaka.
15. Kabonero ki kwomanyira nti wano baziiseewo Sssaalongo oba Nnaalongo mu Buganda – Bateekako ebbombo.
16. Endiga eyitibwa omulaaza eba efaanana etya-? – Endiga ensajja.
17. Olugero: Ekira omukwano – n’ekifi
18. Amannya g’omuziramubazira w’entanda Diaspora ow’omwaka guno – Maseruka Steven Gguluddene.
19. Amazina agaayiiyizibwa ku mulembe gwa Kabaka Mulondo – Amaggunju.
20. Engeri omuganda mwayita okujjanjaba omutwe oguluma – Asobola okusalako emisale n’okunuusa akagolo.
21. Mbeera ki eyasengusisa abantu okuva mu bizinga by’e Ssese awo mu kyasa ky’abiri bwekyali kitandika, – Baalumbibwa ebivu nebafuna obulwadde bwa mmongoota.
22. Ekisoko ekitegeeza okugenda amangu ennyo – Kiserebetu
23. Olugero: Awagumba ennume – wagumba n’enduusi
24. Mugoziita yeekubyemu, otegeera ki? – Kukoggamu.
25. Mpa empisa y’olusuku Omuganda bwaba ayunja Gonja.- Takutula mugogo.
26. Abaganda bagereesa nti wakasanke yaloga wattutuma olwokumubbako omukazi, Wattutuma baamuloga ki? Baamuloga amaaso kwekulaba nti gabeera mamyufu.
27. Kkoyi kkoyi, oluganda olwomusaayi luva wansi mu nju okutuuka ku kasolya, omuggo gw’ekibbo.
28. Ebyafaayo biraga nti Ssekabaka Daudi Cchwa II teyazaalirwa mu lubiri, yazaalirwa wa? – Yazaalirirwa mu kisaakaate ky’Omwami.
29. Mpaayo ekisoko eky’okulyazaamaanya nga kisibuka ku Ssekabaka Ssuuna II – Okusasula nga Ssuuna asasula Abaziba.
30. Ensonga bbiri eziraga nti Obuganda bwazimbirwa ku nsonyi- Ensonyi mu byayogera n’empisa y’obuko.
31. Olweyo abaweesi lwebeeyambisa okwera mu ssasa lyabwe luweebwa linnya ki, – Ekiweeweeto.
32. Mu kwabya olumbe ani akola omukolo ogw’okusumikira?- – Buli muntu yenna ayagala aba ayagadde okweyanjula n’okubuulirira omusika.
33. Enswera ennyingi nga ziri mu kifo zivaamu eddoboozi, eddoboozi eryo liweebwa linnya ki? – Okuŋŋooŋa.
34. Ekisoko: Jje lya musunku – Abantu abakolera awamu.
35. Olugero: Mmuli zigulaki? – Yakaza obusenze.
36. Abasajja abamu babeea n’amasulubu, ekifo awabeera amasulu kiweebwa linnya ki? – Entwiri.
37. Effumu ekkulu erikwasibwa Kabaka ku matikkirwa ge riweebwa linnya ki? – Kawawa.
38. Ebintu ebiraga obuntubulamu bw’Omuganda – Ayamba era asaasira.
39. Abaganda balina omuzizo ogudda ku mukamwana ku luggya lwa Ssezaalawe, gweguliwa, Mukamwana tayita mu luggya lwa ssezaala we mu budde bw’emisana.
40. Olugero: Gwewatunga n’agenda embiro, bwolaba yekaanya – Ng’anaatera okusenguka.
41. Mu lulimi lw’abayizzi mulimu ekigambo “Amakeera”, kyeki? – Ekibumba ky’omusu.
42. Kabaka abantu gwebaakazaako erya Kabaka omulungi – Ssekabaka Daudi Cchwa II.
43. Ekisoko: Okusuula munno omuzima – Okuyamba omuntu mu kintu kyasinga okwetaaga.
44. Enkoko eyitibwa Sseggwanga ebeera etya.- Yeeyo enkoko empaga etakkiriza nkoko ndala kukookolima nga yo weeri.
45. Amayembe g’ente agayitibwa agazigote gegatya- Ge mayembe g’ente ageewese agalinga ag’embogo.
Program Entanda ya Buganda ewagirwa Home Connect Properties Uganda Ltd.
Bikunganyiziddwa: Kamulegeya Achileo K