Mu program Entanda ya Buganda nga 29.11.2022, abamegganyi; Kyeyune Richard eyafunye obugoba 22 ne Luyinda Deziderio eyafunye obugoba 20 baayiseewo okwesogga olumeggana oluddako, ate Kizito Innocent eyafunye 18 yawanduse.
Entanda ewagirwa Home Connect Properties Uganda Ltd.
Bino byebibuuzo ebyabuuziddwa; mu ntanda eyayindidde ku cbs fm 88.8 nr ku Youtube cbsfm ug official
1. Omuwendo ogw’ensuusuuba guba n’ebifo bimeka? – ekifo kimu.
2. Obudde bwebayita munoba bwe buliwa? – Ssaawa 11
3. Ensonga eyalemesa Omulangira Lumansi okusikira Obwakabaka -Kabanga ye yafa kitaawe akyaliwo.
4. Eriiso ly’enswa eribuukira ebweru w’omugala liyitibwa litya? – Ekkoonezi.
5. Amakulu ag’ebuziba ag’ekisoko – Kakutiya okuba ng’abanja – Ye muntu okuba ng’enjala emuluma.
6. Omuzizo gumu kukuba jjambo – Omuto takubira mukulu jjambo.
7. Erinnya ly’omuntu eyakubiriza olukiiko omwatongolezebwa Empandiika y’oluganda entongole – Prof. Takar
8. Ekintu kimu Kabaka Mwanga kyeyakola ekyatutumula ennyo Buganda ne Uganda yonna – Ekiragiro ky’okutta abasomi.
9. Okuzambalira ku mugongo ng’enswa kisoko, kitegeeza ki? – Kwekuyimuka mangu nnyo n’ogenda.
10. Omusawo eyasookera ddala okuzimba eddwaliro mu Uganda? – Dr. Albert Cook.
11. Amaaso agaalwala nga buli kiseera gakulukuta gayitibwa ag’ejjanga, gaweebwa linnya ki eddala? Amaaso agawaamala.
12. Embwa yange tebba ngeyise ku lwa taba, oluki? – Olwaniko.
13. Mu program Kaliisoliiso mubaamu omukyala, teyabaddemu, ani yakoze mu kifo kye? Rajab Kaanaakulya.
14. Enjogeziyogezi etuuka nnannyinimu ku muze – Omuntu bwayogera yogera ennyo ayinza okwogera byatasaanye kwogera.
15. Ku 88.8 mu program Gakuweebwamunno mwakyaziddwamu abagenyi okuva mu masaza ag’enjawulo, baabadde boogera ku ki? – Ku ngeri y’okukuŋŋaanyamu omusaayi.
16. Okukuba akatabo kisoko, kitegeeza ki? – Okulimba.
17. Waliwo Nnamasole eyatuumisa entuumu y’ettaka n’akola olusozi kweyasinziiranga okulengera olubiri lwa mutabani we yaani? – Nnamasole Muganzirwazza.
18. Waliwo oluusi enswa, mu kifo ky’okudda mu nvubo zikwata kkubo ddala, ekyo kiyitibwa kitya? Okuuluula.
19. Amakulu ga mirundi esatu ag’ekigambo Mbwa, Ekisolo kyetulunda, Akawuka akabeera mu mmwanyi n’abavubi gyebeeyambisa okujjayo obutimba obuba bukutukidde mu nnyanja.
20. Obulombolombo bw’abaganda obucuuse olw’ekirwadde kya Covid 19 – Obutanaaza bafu n’obutabaziika.
21. Amannya g’omuntu eyaleeta eddiini y’Abasoddookisi mu Uganda – Rev. Fr. Spatter Ssebbanja.
22. Ekyokuyiga ekiri mu lugero, Akasuka kyali nakyo taba muti- Kyonna kyoba olina osobola okukyeryambisa okufuna kyoyagala.
23. Olugero: Kabantende – asigaza misuwa.
24. Mu lulimi lw’abalunzi kiki kyebayita Omuyonjo – Ekisero ekitambulizaamu enkoko.
25. Ekisoko, Okukyusa envubo – Okugenda n’embeera eba eriwo.
26. Mu Buganda n’emizimu giba n’amannya, Omuzimu gwebayita Nnakyeyitize gweguba gutya?- Gwe muzimu gw’omukazi eyafa nga mugumba.
27. Omulangira eyavaako erinnya ly’Owessaza Kayima – Omulangira Kayima Mpadwa.
28. Ebbutamiro ku migga kitegeeza ki? – Ekifo omugga weguyiira ku nnyanja.
29. Ekika omwavanga abaalyanga obwa Kasujju mu nsikirano – Lugave.
30. Embeera obutiko obubaala webukolera ng’eddagala – Ssinga omuntu asanga omusezi babumuwa naawuuta.
31. Ekisoko, Okuba omubi ng’ansanja – Ye muntu asuubiza ekintu ng’anaabakulu abatwaliddemu ate n’atutuukiriza.
32. Okukaaba kw’ente – Kuŋooŋa.
33. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Kawumb i- Ssente obukadde olukumi, n’akawumbi akalabikira mu muzannyo gw’omweso.
34. Kamunye ow’empaka – akubya nnyinimu enduulu.
35. Ekikolwa ky’okutabula omwenge oguli mu kita gusituke bulungi kiweebwa linnya ki? – Okukuya.
36. Omuntu gwebayita ebbuuka maziba – Ye muwala avubuse.
37. Tebagamba nti Mugoziita yawasizza Omumbejja, bagamba batya? , Mugoziita yaliraanye Omumbejja.
38. Bingiwaza ekisaaganda ky’enva endiirwa – Omwenyi.
39. Ba lubaale batera okubeera n’ebintu mwebawummulira, ebintu ebyo biweebwa linnya ki? Ebikkaliro.
40. Olugero, Amagezi Nsejjere, buli efuluma emmula bwayo.
41. Empisa edda ku kukubagiza, ddi omusajja lwakkirizibwa okukubagiza Nnamwandu- Bwaba agenze ne mukaze we.
42. Mu lulimi lw’abayiisa omwenge mulimu ekigambo okumenyera, kitegeeza ki? – Kwekusengejja omwenge nga gubadde tegunnatuuka.
43. Ebiwuka bibiri Omuganda byagamba nti bibika- Namunyeenye n’ensekere enjeru.
44. Omuti ogumerako amabeere negabunduka n’okubunduka guyitibwa gutya? – Omusa.
45. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okukuba Ssaanyaanya-Kwe kumaliriza omulimu.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.