Mu bifaananyi, Enkuuka ya CBS Enkuuka Vimba 2022 etogozeddwa.
Emikolo gy’okutongoza enkuuka giyindidde mu kisaawe e Wankulukuku.

Mubaddemu okuyisa ebivvulu ebyetabiddwamu abantu ab’enjawulo.
Mubaddemu abayimbi, abazannya omuzannyo gw’ekigwo, abavuzi ba pikipiki,bannakatemba n’abalala.
Enkuuka Vimba yakubaawo nga 31 December, 2022 mu Lubiri e Mengo.

Obusiki obwenjawulo butegekeddwa, ku club Ambience e Bukesa, n’ettabi erya Masaka.
Enkuuka Vimba 2022 etegekeddwa Luba Events, newagirwa MTN n’abalala.