Enkalu zeyongedde ku kiragiro kya president Yoweri Museveni ekyokusazaamu ekyapa kyéttaka ekyaweebwa kampuni y’abasuubuzi bákatale ka St. Balikuddembe akaayitibwanga Owino eya SSLOA, (Stalls Space and Lock-up Shops Owners Association).
Kizuuliddwa nti liizi eyaweebwa abasuubuzi ebadde ebulako emyaka 3 okuggwako.
President Museveni yalagidde Minister w’e byettaka, Judith Nabakooba okwanguyako enteekateeka yokusazaamu ekyapa ekyaweebwa SSLOA, kidde mu mannya ga KCCA.
President era yalagidde Minisiter Judith Nabakooba anonyereze ku bakozi ba ministry yéttaka okuli nebaayise ba commissioner b’ettaka , abagambibwa nti bebenyigira mu nteekateeka zókukola ekyapa kino ekyawebwa aba kampuni ya SSLOA.
Ekiragiro kya President wabula kitabudde abakulembeze mu Kampala, bwebakizudde nti liizi eyaweebwa SSLOA ekyabulako emyaka 3 okuggwako.
okusinziira ku bbaluwa ya president, liizi eyawebwa abasuubuzi mu 2014 yalina okumala emyaka 10 okukulakulanya akatale, oluvannyuma nti balyoke bawebwe emyaka emyaka emirala.
Akulira akakiiko kéttaka mu Kampala aka District Land Board David Balondemu agamba nti Liizi eyawebwa SSLOA teyali yakukuuma kifo wabula kukikulakulanya ekibadde tekinakolebwa, era ategezezza nti balemereddwa okukuuma endagano eyakolebwa nga bafuna liizi.
Balondemu agamba nti ngóggyeko abasuubuzi bano okulemererwa okukulakulanya akatale kano, nti ne liizi eyabawebwa yabawebwa mu bukyamu, kubanga akatale kano kaalina kukolerwamu abasuubuzi abatandika obutandisi okumala ekiseera ekigere, oluvannyuma nebavaamu ate ebifo nebiwebwa abasuubuzi abalala abato.
Omubaka we Mawokota South mu Parliament era nga yaliko Ssentebe wa kakiiko ke by’e ttaka mu Kampala mu kiseera liizi eno bweyaweebwa aba SSLOA, Munamateeka omuteendeke Yusuf Nsibambi agamba nti president Museven tebaamuwabudde kimala, kubanga talina buyinza kusazamu Kyapa kyonna nebwekibeera nga sikituufu .
Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwaga agamba nti Kisanidde omukulembeze w’e ggwanga ave mu nsonga z’obutale mu Kampala, aleeke ebasuubuzi babweduukanyize wamu ne kitongole ki KCCA .
Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye abakuddaalidde,nti kubanga yabagamba beteeketeeke baweeyo ekyapa mu mirimbe, nebamulaba nga byayogera atabiteegera .
Bisakiddwa : Nsubuga Alex