Enguudo zonna eziyita okwetoloola kooti enkulu mu Kampala ziggaddwa, ekisannyalazza entambula mu kitundu ekyo.
President Yoweri Kaguta Museven asuubirwa okulambula wofiisi za kooti enkulu mu Kampala olwa leero.
Rogers Nsereko Kawuma omuduumizi wa Police y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano akubirizza abagoba b’ebidduka okwewala okuyita ku nguudo eziraanye kkooti enkulu mu Kampala okwewala okutaataganyizibwa.