Olukiiko oluteekateeka emipiira gyébika bya Baganda egyómupiira ogwébigere nókubaka, lukunze abazukulu mu bika byabwe okwongera okugenda mu bisaawe okuwagira ebika byabwe ate nókubikwatirako mu by’ensimbi.
Bino bibadde mu bubaka bwa Ssentebe wémipiira gino, Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, bwabadde ayogerako eri banamawulire olwaleero mu Bulange e Mengo.
Katambala agambye nti wabaddewo okusituka mu mutindo gwémpaka zino newankubadde ate abazukulu bakyaali batono mu bisaawe.
Empaka zébika ezómupiira ogwébigere ziddamu okuzanyibwa enkya ku lwokuna n’emipiira 8 egigenda okuggulawo omutendera gwébibinja ogwa ttiimu 16.
Mu kisaawe e Wankulukuku, Emamba Gabunga egenda kuttunka nÓmutima Omuyanja ku ssaawa 8, Omusu bazuzumbe ne Nte ku ssaawa 10.
Mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, Embogo yakuttunka ne Mamba Kakoboza ku ssaawa 8, ate Engeye ettunke ne Nsenene ku ssaawa 10 ezólweggulo.
Ku kisaawe kya Kawanda SS, Ekinyomo kyakuzannya ne Ffumbe ku ssaawa 8 ate ku ssaawa 10 Empindi yakuttunka nÓlugave.
Ku kisaawe kya Buddo SS, ku ssaawa 8 Ekkobe ligenda kuttunka n’e Ndiga, olwo Abalangira battunke ne Ngonge ku ssaawa 10 ezólweggulo.
Ebyo nga biri bityo, era olukiiko luno lukakasiza nti emipiira egyókubaka gigenda kuddamu okuzanyibwa ku lwómukaaga luno nga 16 ku ssetendekero wa St Lawrence University.
Ebika 26 bikakasiza okwetaba mu mpaka zino, nga byonna bisengekedwa mu bibinja 4.
Egimu ku mipiira egigenda okuzanyibwa ku lunaku olwo, Omutima Omusagi bakuttunka ne Engeye, Ensenene yakuzannya ne Ngaali, Emamba Kakoboza bakuzannya ne Olugave, Enjovu ne Emamba Gabunga, Embogo nÉkinyomo némirala.
Ssabasajja lweyatongoza empaka zébika mu ssaza nga 11 omwezi ogwókutaano, Embwa yakuba Engo obugoba 26-25.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe