Empaka z’ebika bya Baganda ezómupiira ogwébigere ziddamu okuzanyibwa olwaleero némipiira 8 mu bisaawe ebyenjawulo, era gye gigenda okuggalawo omutendera gwébibinja.
Ebika 5 okuli Emamba Namakaka, Effumbe, Empindi, Ekkobe ne Ndiga byayisewo dda okwesogga oluzannya lwa quarterfinals.
Ku kisaawe kya Old Kampala SS, Enseenene egenda kuttunka ne Ngeye kusaawa 8 ate Engoonge egenda kuzannya ne Abalangira ku ssaawa 10 ezólweggulo.
Ku kisaawe kya Buddo SS, Effumbe ligenda kuzannya ne Kinyomo ku ssaawa 8 ate Ekkobe lizannye ne Ndiga ku ssaawa 10.
Ku kisaawe kya Kawanda SS, Nte egenda kuzannya n’Omusu ku ssaawa 8 ate Emmamba Kakoboza egenda kuzannya ne Mbogo ku ssaawa 10.
Ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, Omutima Omuyanja gugenda kuzannya ne Mamba Namakaka ku ssaawa 8 ate Olugave luzannye n’e Mpindi kusaawa 10 ezólweggulo.