
Emisango egiwakanya obuwanguzi bwómubaka omukyala owe Kayunga Aidah Erios Nantaba teginaggwa kooti ejulirwamu eragidde ogumu ku misango gino, guddemu okuwulirwa mu kkooti enkulu e Mukono.
Ritah Nabadda Kansala w’eggombolola ye Nazigo mu district ye Kayunga yawakanya obuwanguzi bwa Nantaba , ng’agamba nti talina buyigirize busaanidde kubeera mubaka.
Nabadda era alumiriza Nantaba okugulirira abalonzi.
Kooti enkulu e Mukono omusango guno yagugoba ng’egamba nti Nabadda teyalina mikono gyabalonzi 500 okuloopa omusango guno.
Wabula mu nsala yábalamuzi abasatu aba kooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Geoffrey Kiryabwire bakkiriziganyiza, nebalagira kkooti enkulu okuddamu okuwulira omusango guno.
Abalamuzi bagambye nti emikono gy’abalonzi Nabadda gyeyalina gyali gimala, wabula omulamuzi Olive Kazarwe eyaguli mu mitambo nti yamulanga butavvuunulira balonzi bujulizi bwabwe bwebaawa kkooti, era bagambye nti kino kyali tekigobya musango guno.
Wabula ate mu musango ogwokubiri ogwaloopwa Jackline Kobusingye eyali avuganya ne Nantaba, kkooti yeemu egugobye ngegamba teguliimu kanigguusa.
Kobusingye abadde alumiriza Nantaba okujingirira empapula z’ebyobuyigirize, kyokka obujulizi bweyaleeta abalamuzi bakizudde nti tebumatiza. Bwebatyo bakakasizza nti Nantaba ye Mubaka omukyala omulonde owa District ye Kayunga.
Abalamuzi bagobye omusango nebalagira enjuuyi zombi, okwesasulira ensimbi zezisaasaanyirizza mu musango.
Wabula kino tekisanyusizza Nantaba ngágamba nti asaasaanyizza sente nnyingi mu kupatana bannamateeka, nga kiba kyabwenkanya omuntu eyawaaba omusango ogutaliimu ggumba okumuleka obulesi.
Wadde nga Nantaba omusango ogumu aguwuuse buva, naye ate akyayina okuddayo mu kkooti enkulu e Mukono, okuddamu okuwulira omusango omulala mwebamulumiriza okugulirira abalonzi n’obutabeera nabuyigirize busaanidde ogwawabwa kansala Ritah Nabadda.
Aidah Nantaba munnaNRM era nga yaliko minister wébyempuliziganya nókuteekerateekera eggwanga, mu kalulu aka 2021 yesimbawo nga talina kibiina mwajidde,náwangula banne abalala bataano yafuna obululu 47,725.
Yawangula Harriet Nakwedde owa NUP nóbululu 37,117, Jackline Birungi Kobusingye teyalina kibiina yafuna obululu 10,202 Agatha Nalubwama owa NRM yafuna obululu 9, 237 Margaret Nabirye yafuna 3,648.