Abavubi ku mwalo ogw’eBugabo mu gombolola y’eBusamuzi mu bizinga e Buvuma, bazudde emirambo gya banabwe 2 abaagwa mu nnyanja ku lunaku olw’omukaaga oluyise.
Omuyaga ogw’amaanyi gwakuba akaato kebaali basaabalirako, nekabannyikamu nnyanja.
Emirambo eginnyuluddwa kuliko ogwa Omuntu Simon nga ono we Pallisa kwosa ogwa Ssalongo Muzamiru owe Mayuge.
Nyini ntebe owa gombolola y’eBusamuzi Mirimu Ssenyonjo David agamba nti obubenje buno bweyongedde mu kiseera kino olw’omuyaga ogukunta obutasalako, n’alabula abavubi abakozesa obwato obutono okwegendereza enkyukakyuka y’ennyanja.
Police emaze okwekebejja emirambo gyombi n’ekkiriza ab’oluganda okujiziika.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis