Emipiira gy’ebika by’abaganda gyakuddamu okuzanyibwa nga 20 omwezi guno ogwa june, n’emipiira 2 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda, yasiimye emipiira gy’ebika egy’omwaka guno n’agitongoza ku lw’omukaaga oluwedde, Engo yakubye Embwa goolo 4 – 2.
Ensengeka ezifulumye ziraze nti ab’Omutima Omuyanja bagenda kuttunka n’Amazzi g’Ekisasi, ku saawa 8 ez’emisana, ate ku ssaawa 10 ez’olweggulo ab’Omusu battunke n’Enjobe gyonna mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu nga 20 June.
Enkeera nga 21, Akayozi kakuzannya n’a Kasimba ku kisaawe kya Kawanda SS, Enkula ezannye ne Njaza ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu gyonna ku saawa 10 ez’olweggulo.
Nga 22 era omwezi guno june, Entalaganya yakuzannya ne Nkerebwe mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu, Namungoona ne Nkejje e Kawanda gyonna kusaawa 10 ez’olweggulo n’emizannyo emirala.
Omutendera guno ogusooka gwasunsulamu ebika 8 ebigenda okwegatta ku bika 24 ebyasumusibwa edda, okuweza ebika 32 wabula nga nakuno bakusunsulamu ebika 16 ebinazannya ku mutendera gwe bibinja.
Emipiira gyonna gyakuzannyibwa mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, Kawanda SS n’ekisaawe kye Wankulukuku.
Bisakiddwa:Issah Kimbugwe