Ekirombe omusimwa amayinja kibumbulukuse nekiziika abantu basatu n’emmotoka gyebabaddemu nga batikka amayinja kika kya Isuzu Elf.
Ekirombe kino kisangibwa ku kyalo Nganjo Bweya Namulanda mu Kajjansi Town Council, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebbe mu district ye Wakiso.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire ekitongole kya police eky’abazinnyamwoto kitutte emmotoka ziwetiiye okutaasa embeera.
Enjega eno eguddewo ng’obudde buwungeera ku ssaawa nga kkumi na bbiri n’ekitundu.