
Omuzannyi w’omupiira munnauganda Edward Saturo mu butongole yegasse ku club ya AS Kigali egucangira mu liigi ya babinywera eya Rwanda, okutandika okubacangira endiba sizoni ejja.
Edward Saturo atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 nga abacangira endiba, era ng’abadde amaze ekiseera nga talina club yonna gyazannyira.
Saturo ettuttumu okusinga yalifunira mu mpaka z’amasaza ga Buganda, nga yawangulira Gomba ekikopo mu 2017 ne Ssingo mu 2018.
Yoomu ku bazannyi club ya Wakiso Giants eya Uganda Premier League beyatadde ku nkomerero ya sizoni ewedde okunoonya ebibanja ewalala.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe