Omuliro gukutte edduuka ku kyalo Rutwe mu town council ye Kihihi mu district ye Kanungu gwokeddemu omwana wa myaka 2 n’asirikka.
Omwana asangiddwa ng’afiiridde mu muliro ye Asingura Lordwin.
Kigambibwa nti ku saawa nga 4 ezokumakya, maama w’omwana nga ye Vanis Akankiza yamulese mu Dduuka nga yebase, nalekamu ne stove kwabadde afumbira,olwo ye natwala omwana omulala mu Ddwaliro.
Kiteberezebwa nti omuliro gwavudde ku stove ne gwokya e Dduuka lyonna n’omwana nafiiramu.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Elly Maate ategezezza nti abatuuze bagezezaako okutaakiriza nebaddusa Asingura mu Ddwaliro lya Kigezi gy’afiiridde.