Akakiiko akavunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa mu ggwanga, aka Uganda Land Registration Commission, kasazizzaamu ebyapa ebyali byaweebwa omusuubuI Hamis Kiggundu ne kampuni ye eya Kiham Enterprises ku ttaka lya Kabaka e Kigo mu district y’e Wakiso.
Akola nga ssenkulu wa Uganda Land Commission, Mugaino Baker mu kiwandiiko kyataddeko omukono, agambye nti akakiiko k’ebyettaka mu district y’e Wakiso kaakola nsobi okuwa Ham ebyapa bya ‘Free Hold’ ku ttaka lya Kabaka erimayiddwa obulungi nti lya Mailo.
Ssaabasajja Kabaka ng’ayita mu bannamateeka aba S&S ne S&L Advocates yeekubira enduulu mu kakiiko nga yemulugunya ku byapa ebyali biweereddwa Ham mu bukyamu ku ttaka lye.
Okwerula empenda kwakolebwa gyebuvuddeko era kwalaze nti ebyapa bya ‘Freehold’ byonna Ham byabadde nabyo ebyamuweebwa district ye Wakiso nti byakolebwa ku ttaka lya Kabaka, ekitakkirizibwa mu mateeka, era kwekusazibwamu.
Omwogezi wa Buganda Land Board, Denis Bugaya agambye nti kibadde kirabwa n’ayoonka nti ebyapa bya Ham Kiggundu bibadde sibituufu, nti kubanga abadde yakabifuna ate nga ebya Ssabasajja kaawo kadda.
Bugaya alabudde Kiggundu obutaddamu kusaalimbira ku ttaka lino kubanga kati kikakasiddwa nti talinayo bwannanyini bwonna, era aweeredwa essaawa 72 okulyamuka.