
Government ya Uganda ng’eyita mu ministry y’eby’ettaka eriko ebyapa mukaaga by’esazizaamu ebyali byakolebwamu ensobi.
Ettaka lino lya government wabula lyali lyawebwako abantu ba bulijjo ebyapa, ku kyalo Kidaadiri mu district ye Buikwe.
Abakulembeze bawanjagidde government okukola enongosereza mu mateeka agafuga ettaka lyayo mu gwanga nti kubanga agaliwo galimu emiwaatwa.
Ebyapa ebisaziddwamu biri ku plot 164,166,167,169,170 ne 171.
Minister avunanyizibwa ku by’ettaka Judith Nabakooba Nalule ategezezza nti vvulugu munji eyali yetobeka mu kukola ebyapa bino, nga abatuuze abaliriko tebaawebwa mukisa
Agambye nti abantu abaali baalifunako ebyapa baava mu bitundu birala, nasaba abatuuze abaliriko kati okutandika okusaba ebyapa nabo bafune obwanannyini.
Kanaabi Jimmy sentebe wa district ye Buikwe ategezezza nti etteeka okukkiriza okuwa abantu bonna olukusa okusaba ‘public land’ ne bwebaba nga tebalinaako bibanja, yekanuzaala asinze okuvaako obusambatuko ku ttaka.
Ssentebe asabye minister Nabakooba nti government esaanye ekole enongosereza mu mateeka gano okuggyamu emiwaatwa.
Minister omubeezi mu office y’omunyuka w’omukulembeze we gwanga era nga ye mubaka omukyala owa Buikwe Diana Mutasingwa ategezezza nti, government ekyalina omulimu gw’amaanyi okulwanyisa ekibba ttaka ekikute wansi ne waggulu wano mu Buganda.