Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza ekibinna kya EBIKA BYAFFE FOUNDATION, nomulanga eri abazukulu ba Buganda okukyettanira okunyweza n’okutumbula ebyenkulakulana ,Obuwanga n’ennono mu bika byabwe.
Mu bubaka bwa Katikiro bwatisse Omukubiriza woolukiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule kumukolo ogwo kutongoza ekibiina kino ku Hotel African ,Katikiro agambye nti omulamwa gw’ekibiina kino gukwatagana bulungi n’ebigendererwa bya bajjaja abataka abakulu ababusolya, era nti kyakuyambanyo Okunyweza obuwangwa n’ennono.
Kululwe omukubiriza woolukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwaga Mugumbule yebaziza Radio Cbs olwo mulimu omunene gwekola ogwokutumbula obuwangwa n’ennono nga eyita mu Programme yaayo Entanda ya Buganda .
Omukubiriza w’olukiiko lwa bataaka era Omutaka omukulu owa Kasolya kekika ekye Kkobe omutaka Augustine Kizito Mutumba asabye abazzukulu babwe okwenyumirizi mu buwangwa bwabwe baleme okubuzabuzibwa ba kyeruppe, nasuubiza nti abataka bakukolagana n’ekibiina kino okutuukiriza ebigendererwa byakyo.
Omuyima wa Bika byaffe Foundation Mutanda Bulasio Kawule agamba nti baasalawo bateekewo ekibbina kya Bika Byaffe Foundation, n’ekigendererwa ekyo kulaba ng’obutaka bwonna bubeera mu mbeera eyeyagaza ng’abataka bobusolya balina embuga nga bwegwali edda, okulamula obulungi bazzukulu babwe .
Zambaali Bulasio Mukasa omu ku bawomye omutwe mu nteekateeka eno agambye, abazzukulu buli olukya bagwamu ensa, bavumirira Obuwangwa n’ennono nga balowooza bikolwa bya Sitaani ekintu ekisanyawo ennono n’ebirala.
Office z’ekibiina zisangibwa mu Kampala ku Mukwano Mall, balina ekiruubirirwa eky’okuzimba amasomero 50, ng’emu ku nsawo eyokulabirira ebika ,ekibiina kino kyatandika n’abantu 30,era nga bagala buli kika kiweeyo abantu okubeera ba member mu Bika Byaffe Foundation .
Bisakiddwa: Nakato Janefer