
Bazzukulu ba Katongole abeddira Ente balaze eryanyi mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere, bakubye bazzukulu ba Muyingo ab’ Omusu goolo 4 – 0 mu kisaawe e Wankulukuku
Goolo eziwadde Ente obuwanguzi ziteebeddwa Umar Kasumba 2, Katongole Herbert 1 ne Sempijja John Bosco 1.

Omupiira omulala ogubadde ku kisaawe e Wankulukuku, bazzukulu ba Gabunga abeddira Emamba bakubye Omutima Omuyanja 2 – 1.
Goolo z’e Mamba ziteebeddwa Patrick Kaddu ne Titus Ssematimba, ate goolo y’Omutima Omuyanja eteebeddwa Pius Kaggwa.
Abalangira balemaganye ne Ngoonge goolo 1 – 1 ku kisaawe kya Buddo SS.
Ggoolo ya Balangira eteebeddwa Yayo Lutimba ate eye Ngoonge eteebeddwa Ssemwanga Saulo.
Era ku kisaawe kya Buddo SS Ekkobe likubye Endiga goolo 2 – 1.
nga goolo za Kkobe zitebeddwa Musitafah Kiragga ne Ibrahim Kayiwa ate eye Ndiga etebeddwa George Ssenkaaba.

Ku kisaawe kya Kawanda SS Empindi ekubye Olugave goolo 2 – 1.
Goolo z’e Mpindi ziteebeddwa Brian Majwega ne Derrick Mboowa, ate ey’Olugave eteebeddwa Arnold Sserunjogi.
Mu ngeri yeemu ku kisaawe kya Kawanda SS Effumbe likubye Ekinyomo goolo 2 – 0, eziteebeddwa Jamir Nvule Kisitu ne Bruno Musa Ndugga.

Ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, Emmamba Kakoboza ekubye Embogo goolo 1-0, ateebeddwa Fahad Kizito.
Ku kisaawe kye kimu Engeye eremaganye ne Ensenene 0 – 0.
Emipiira giddamu ku bbalaza ejja nga 18 August 2022, ng’ebika bivuganyiza mu bibinja.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe