Abayizi emitwalo 832,810 ab’ekibiina ekyomusanvu bebagenda okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebya PLE, nga basuubirwa okubituulira mu bifo 14,153 okwetoolola eggwanga.
Omuwendo gw’abayizi bano gweyongeddeko n’omugatte gw’abayizi 82,999 nga bakola ebitundu 11.1% bwogerageranya naabo abatuula mu 2020.
Abayizi bano abagenda okutuula ebigezo kuliko abasibe 61 ababadde basomera e Luzira mukomera.
Ku bayizi bonna omugatte, 432,618 bawala nga bakola ebitundu 51.9% ate ng.’abalenzi bali 400,192 nga bakola ebitundu 48.9%
Omugatte gw’abayizi 2,316 abaliko obulemu bebasuubirwa okutuula ebigezo bino enkya ya leero, ebitandika ku ssaawa ssatu.
Bagenda kutandika n’ekigezo eky’okubala ku makya ate olweggulo bakole SST.
Ate enkya kulwokusatu bakutandika n’ekigezo kya Science, olweggulo bakomekereze n’ekigezo ky’olungereza.
Ssenkulu wekitongole kya UNEB Dan Nokrach Odong atutegezezza nti ebikozesebwa by’onna byatusidwa dda mubuli kanyomero ka gwanga kisobozese abayizi okutandika ebigezo bino mubudde.
Mu district eziri ku muggalo, abamu ku bayizi bakedde kusoombebwa mu mmotoka ezaatereddwako sticker z’ekitongole kya UNICEF.
Jennifer Kalule, ayogerera UNEB agamba nti obutafannako nga bulijjo mu district, okuli Kassanda ne Mubende, abasomesa abagenda okukuuma ebibuuzo ebyo, bajiddwa mu district ezo zennyini, okwewala okutaataaganyizibwa kw’eby’entambula nga bwekyali ku bibuuzo bya senior ey’okuna n’okwewala ebibuuzo okutuuka ekikeerezi ku masomero.
Bisakiddwa: Gerald Ddamulira