Ppereketya w’omusana ayaka nga tasalako olw’ekyeya ekyazinze district ye Lyantonde,Ssembabule,Gomba, n’awalala awava amata kireeetedde ebbeeyi yaago okulinnya.
Abalunzi tebakyalina muddo gwakuliisa nte wadde amazzi.
Mu district ye Lyantonde amagombolola nga Lyakajjula,Kinuuka, Kashagama ne Mpumudde, ebisolo n’abantu bonna ekyokulya bawamanta kiwamante.

Mu district ye Gomba naddala mu bitundu bye Maddu,Kigezi ne Kyayi eno ente zitandise okutondoka nga bwezifa olw’enjala n’enyonta.
Abalunda embuzi zebasiba mu bisibo awaka, tezikyava ku miguwa, olw’ettale okuba ekkalu teri muddo.
Abaali baalima kasooli naakala nga tanakula, ebisoolisooli ebyo byebatema nebawa embuzi.
Mu kiseera kino ebbeeyi y’amata ku Diary zomubyalo eri wakati wa shs 1800 – 2500/= so ng’emyezi nga mukaaga egiyise ebadde ku shs 600 – 1000/=.
Wabula abasuubuzi b’amata bagamba nti nabo bali mukusoomozebwa, abantu mu byalo bagula matono olw’ebbeeyi eyalinnye, so nga n’okugatwala mu bibuga ebbeeyi y’amafuta eri waggulu ebakaluubiriza okugatambuza.
Abalunzi beraliikirivu nti ekyeya kyandyegattamu endwadde negujabagira
Basinze kweraliikirira akawuka k’omuttaka akalwaza kipumpulu, ebizimba ne kalusu olw’ensolo ezitambuzibwa okunoonya amazzi.