Kkooti etaba amawanga g’obuvanjuba bwa Africa etudde mu kibuga Arusha ekya Tanzania eya East African court of Justice, esingisizza Rwanda omusango gw’okuggalawo ensalo yaayo ne Uganda nti yakikola mu bumenyi bwamateeka.
Kooti erabudde Rwanda obutakiddira kyeyakola.
Bino bibadde mu nsala yábalamuzi ba kooti eno bataano okubadde; Yohane Masara, Dr. Charles Nyawello, Charles Nyachae, Richard Muhumuza ne Wabwire Wejuli.
Munnamateeka womu Kampala Steven Kalali yeyaloopa omusango guno , ngágamba nti Rwanda kyeyakola nti kwali kutyoboola ndagaano eyamawanga ga East Africa, ekkiriza abantu okutambula n’okusuubula ekyere mu mawanga gannamukago gwa East African Community.
Ngénnaku zómwezi 28th February, 2019 Rwanda yaggalawo ensalo ye Gatuna, ngerumiriza Uganda okwenyigiranga mukuwamba n’okuggalira bannansi ba Rwanda, ate netabatwala m kooti kwewozaako.
Mu nnamula yabwe abalamuzi ba kooti eno banenyezza Rwanda okunafuya eby’obusuubuzi nebyenfuna wakati w’amawanga gombiriri, okumala emyaka esatu ensalo gyeyamala nga nzigale, era nebalabula Rwanda kino obutakiddira.
Wabula abalamuzi tebalina ludda lwebalagidde kuliyirira lunaalwo.
Munnamateeka Kalali asanyukidde ensala yá kooti , nágamba nti kyakuwa ekyókuyiga eri amawanga amalala gannamukago, obutaddamu kukola nsobi yeemu, nókussa ekitiibwa mu ndagaano zebakola námawanga amalala.
Wabula ensala wegidde nga Rwanda yaggulawo dda ensalo zaayo okuli eye Cyanika, Gatuna ne Mirama Hills.