
Ssentebe wákakiiko kómukago gwa East Africa akalondoola akalulu ké Kenya aka East African Community obersever Mission era eyaliko president wé Tanzania Jakaya kikwete agambye nti okutwalira awamu ekitundu ekisoose eky’akalulu ke Kenya kitambudde bulungi mu mazima nóbwenkanya, kati ebirindiriddwa yénkwata yebivaamu nókulangirira omuwanguzi.
Jakaya Kikwete agambye nti okusomoozebwa okwabaddewo kwa bintu ebikozesebwa mu kulonda okutuuka ekikeerezi mu bitundu ebimu, wabula nti ate nakwo kwakwatiddwa bulungi, era nga kulina okubawa ekyókuyiga mu kulonda okuliddako.
Ensonga endala gyanokoddeyo yeyómuwendo gwábalonzi okuba omutono okugerageranya nábantu abewandiisa okukuba akalulu, era nategeeza nti akakiiko kókulonda aka Independent Electoral and Boundaries Commission kalina okwekennenya ensonga eno, kawe alipoota ku kyaviiriddeko embeera eno.
Okusinziira ku IEBC abantu obukadde 22.1 bebewandiisa okukuba akalulu, wabula abantu obukadde 14.1 bebaakubye akalulu.
Mu ngeri yeemu Dr.Ernest Bai Koroma akulidde akakiiko ka AU-COMESA Election Observation Mission okulondoola okulonda mu Kenya, era yaliko president we Sierraleone agambye nti olulimi olusiga obukyayi olwakozesebwa abakulembeze ngókulonda tekubaawo kye kimu ku byatisiizza abantu abamu okugenda okulonda.